rnrnrnrnrn
You are here
Home > Posts tagged "agaffa emengo"

GUSINZE AYI BEENE! Omutaka Nsamba Aterekeddwa E Buwandwa

Gusinze nnyo ayi Ssaabassajja Kabaka, omutaka Nsamba yozefu lubega lukonge kamoga aziikiddwa ku butaka e Buwanda mu mawokota. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, amusiimye olwokuba owemizzi ate omwesimbu ate nokukuuma mailo yembuga yekika nga tekwatiddwako ekyoleka obwesimbu bwabadde nabwo.

ABASIKAWUTU OKUZZAAWO OBUTONDE BW’ENSI: Gen. Katumba Wamala Akunze Abaakuno

Minsita omubeezi owebya mayumba Gen Katumba Wamala ayongedde okukikkatiriza nti  buvunnanyizibwa bwa bavubuka okukuuma obutonde bwensi naddala mu kiseera kino nga ngembeera yeeyongedde okutamuuka. Katumba era nga ye Ssentebe w’ekibiina ekiggatta abasikawutu n’abagayidi, mu ggwanga abadde ku Woteeri Africana nga batema empeenda yokutuuza olusirika wali e Kaazi.

Okudda Kwa Gen. Kayihura Mu Woofiisi By’agenda Okutandikirako Okukola Byogeddwa

Ebyo ng’obitadde ku bbali, Poliisi ekakasizza nga Ssaabaduumizi wa Poliisi Gen. Edward Kale Kayihura bweyakomyewo mu ggwanga oluvanyuma lw’okumaliriza emirimu emitongole gyabaddeko emitala w’amawanga. Okubulawo kwa Kayihura kwogezza abantu bangi ebikankana kyokka ng’omwogezi wa Poliisi Assan Kasingye agamba nti bagenda kwongera okunyonyola byeyasakidde Poliisi e Bulaaya.

Top