rnrnrnrnrn
You are here
Home > AMAWULIRE AGEESIGIKA > Ssebaana ku bakulembeze

Ssebaana ku bakulembeze

\r\r\r\r

Eriiso ly’omukulu ewaddugala wewalaba songa n’amagezi gakuweebwa mun.o.\r\n\r\nKino bannakibiina kya DP abaawangula akalulu kwebasinzidde okukyalira eyali Meeya John Ssebana Kizito abalungamye.\r\n\r\nEyaliko senkaggale w’ekibiina ki Democratic Party [DP] John Ssebaana Kizito alabudde ku kya pulezidenti Yoweri Museveni okujolonga abagabi b’obuyambi nti kyakunyigiriza nyo bana-Uganda nga babinikibwa emisolo eminene.\r\n\r\nBw’abadde asisinkanye bannakibiina ki DP abaawangudde ebifo eby’enjawulo mu gombolola ye Makindye, Ssebaana agambye nti kikyamu okwesulubabba omukago gwa Bulaaya.\r\n\r\nSsebaana era eyaliko meeya wa Kampala alabudde abakulembeze abalonde nti kye kiseera basse ebbali enjawukana zaabwe balowooze ku ky’okuweereza abantu\r\n\r\nAyongedeko nti kyekiseera okusakira beebakulembera nga ne bwekiba kyetaagisa kusisinkana pulezidenti Museveni ba ddembe okukikola.\r\n\r\nYe meeya we Makindye omulonde, Nganda Mulyanyama agamba nti okukyalira Ssebaana kibadde kibakakatako ng’abakulembeze abalonde okumwebuzaako ku nkola y’emirimu  n’obuweereza wakati mu kusomoozebwa.\r\n\r\nNganda agamba nti bakutandikira ku nsonga eziruma banna Kampala ng’emisolo eminene, okulwanyisa amataba, enguudo embi n’ebulwa ly’emirimu.\r\n\r\nBya Robert mwanje\r\n\r\nBBS TEREFAYINA\r\n\r\nAGEESIGIKA\r\n\r\n \r\n\r\n \r\n\r\n \r\n\r\n 

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top