rnrnrnrnrn
You are here
Home > EBY'EMIZANYO > SLOVAKIA EURO 2016

SLOVAKIA EURO 2016

\r\r\r\r

Ngatumaliriza ebikwata ku kibinja ekyokubiiri mukikopo kye mpaka za Bulaaya, olwaleero tukuletedde eggwanga lya Slovakia. Lino limaze emirundi egiwerako nga likiika mu mpaka zino ng’omusasi waffe bw’azudde.\r\n\r\nSlovakia yatandika okusamba omupiira  nga 27-08-1939,Slovakia newangula German 2-0. Egwanga lino lyakasamba ekikopo kyensi yona omulundi gumu mumwaka gwa 2010 ate kyo ekikopo kya Bulaaya guno gwemulundi gwayo ogusoose okusamba empaka zino.\r\n\r\nEgwanga lino libadde nabasambi abamanya omuli Marek Hamsik,Jan Durica,Filip Holosko, peter pekarik ne stanislav sestak. Slovakia etendekebwa Jan kozak nedumirwa Martin Skrtel, ekisaawe kyayo kiyitibwa stadio Antona(19,200).\r\n\r\nMiroslav karhan ye musambi akyasinze okusambira Slovakia emipiira emingi(107) ate Robert vittek yakyasinze okuteeba goolo enyingi(23).     Obuwangunzi bwa Slovakia obwamanyi yabutukako bweyakuba Lichestine ne san marino goolo 7-0.\r\n\r\nSlovakia okuyitamu yali mukibinja C omwali Spain, Ukraine,Belarus,Luxembourg neMacedonia era ekibinja kyakulemberwa spain nobubonero 27 ate Slovakia nekunganya obubonero 22 mukyokubiiri.\r\n\r\nSlovakia egulawo empaka zino ne Wales nga 11-June,ezeko Russia nga 15-June esembyeyo Bungereza nga 20-June. Abasambi abayitidwa okusamba empaka zino kuliko abakwasi ba goolo (4)okuli Jan mucha,Matus kozasik,Jan Novota ne Martin Dubravika. Abazibizi mulimu Martin Skrtel(kapiteeni),Jan Durica, Peter pekarik,Tomas Hubokan,Konel salata,Dusan svento,Nobert Gyomber ne Lukas Tesak.  Abawuwutanyi kuliko Marek Hamsik,Stanslav Sestak miroslav stoch,vladmir Weiss,Juraj kucka,vikto pekovisky, Robert mak,Ondres Duda, Erik sabo ne  Jan Gregus.   Abateebi kuliko Robert vittek, Micheal Duris ne Adam Nemek.\r\n\r\n 

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top