rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > PROF. Lawrence Mukiibi Omutandisi W’amasomero Ga St. Lawrence Afudde

PROF. Lawrence Mukiibi Omutandisi W’amasomero Ga St. Lawrence Afudde

\r\r\r\r

PROF. Lawrence Mukiibi omutandisi w’amasomero ga St. Lawrence afudde enkya ya leero oluvannyuma lw’okumala ennaku ng’ajjanjabibwa ku ddwaliro li Norvik wano mu Kampala.

Mu kiseera kino ab’enganda ze n’emikwano bali mu nteekateeka ez’okuziika wali mu maka ge e Kitemu

Okusinziira ku muyambi  wa Prof. Mukiibi ,  Muky. Nannyanzi Prof.  abadde atawaanyizibwa obulwadde bwa Ssukaali era nga abadde atera kujjanjabirwa mu ddwaliro lino.

Kigambibwa nti embeera ye yayongedde okuba obubi ku lw’okuna lwa wiiki eno era ng’abadde assize ku byuma

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ab’enju y’omugenzi wamu n’abayizi mu masomero ge, omugenzi afudde bukya olwaleero.

Kinajjukirwa nti  Prof. Mukiibi yafuna akabenje ku nkomerero y’omwaka oguwedde era okuva olwo abadde  tatereera.

Prof . Mukiibi y’abadde nannyini masomero ga St Lawrence agasangibwa ku luguudo lw’eMasaka nga kuno kw’ogatta yunivaasite ya St. Lawrence esangibwa wano ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba ate n’essomero lya Pulayimale Valencia Primary School.

Mukiibi anajjukirwa nnyo nga omuntu abadde ayagala abaana okusoma era nga abadde agaba bbasale ezisoba mu lukumi buli mwaka mu masomero ge ate nga afaayo nnyo n’okusiima abayizi abasukkulumye ku bannaabwe mu kusoma obulungi.

Enteekateeka z’okuziika zigenda mu maaso mu makaage ate nga ggwo omulambo gumaze okukwasibwa kkampuni ekola ku by’okuziika okukola ku by’okugutambuza.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top