,

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde enkya ya leero nelukubaganya ebirowoozo ku biragiro Nyinimu Ssaabasajja Kabaka byeyabalagira okussa mu nkola bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Enkya ya leero abakiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu bakubaganyizza ebirowoozo ku nsonga kabaka zeyabalambika bweyali aggulawo omwaka gw’olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Olukiiko lulambikiddwa omukubirizibwa w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule era lutandise nakusaasira abo abafunye ebizibu ate n’okujagulizaako abo abaliko byebatuuseeko.

Kamalabyonna ayanjudde emikolo Kabaka gyasiimye okulabikirako okuva olukiiko lwelwasembayo okutuula.

Egimu ku mikolo kabaka gyasiimye okulabikirako kwekuli okulambula obutaka bwekika kye ffumbe ne nemba, kamalabyonna wano azeemu nakaatiriza ensonga yokuwandiisa ettaka lye mbuga ze bika mu bayima nti kino kyakuyamba okumalawo ekibba ttaka.

Ku nsonga eno katikkiro eraazzeemu nalabula abantu ku nsonga ze nkayana mu bika nti yye wakugendera ku nsalawo kabaka gyaba awadde nga bwenatambula.

Ensonga ye bbago lye teeka ku mwanyi nayo obwakabaka tebunajijjako ngalo era katikkiro ategeezezza obuganda nga bweyawandiikira gavumenti ebirowoozo byobwakabaka ku bbago lino era nga balindiridde ekinavaayo.

Egimu ku mirimu egibadde mu wofiisi ya katikkiro gyanokoddeyo kwekusisinkana ekitongole kyebyobulamu mu gavumenti ya wakati era nebakubaganya ebirowoozo ku ngeri yokukwataganamu okulwanyisa ezimu ku ndwadde enkambwe, kamalabyonna era akinogaanyizza nga ezimu ku ndwadde ezitawaanya abantu mu Uganda bwezeekuusa ku buligo.

Mu ngeri yeemu yalambula n’omulimu gwokuzzaawo enyumba Muzibuazaalampanga wegutuuse era azeemu nakaatiriza ensonga yokuba nga amasiro kati gwa essuubi nti gaakuggwa amangu ddala wadde.

Kamalabyonna ayanjulidde obuganda ensonga 4 Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka zeyalambika obuganda bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Mu zino mulimu kabaka okusiima akakiiko akateekateeka omukolo gwa matikkira ogwali enkumba nga baakulemberwamu owek Chrisopher Bwanika nga amyukibwa Owek David Kyewalabye Male ate ne Prof Twaha Kawaase Kigongo eyakola ku nteekateeka y’omugenyi wa Kabaka owenjawulo Sultan Saad Abubakar II okuva e Sokoto.

Kabaka era yasiima aba Buganda heritage association ettabi lye bugngereza olwokuteeka ekipande ku nnyumba Ssekabaka Muteesa mweyabeeranga era katikkiro wano alagidde ebifo byonna ebyobwakabaka ebirina ebyafaayo ebyenkizo okuteebwako obulambe okusobola okubiziyiza okuzaawa ate n’okufunamu ensimbi mu byobulambuzi.

Kabaka era yasiima ebika gyeyasiima okulambula olwenteekateeka zeebakola era nakubiriza negyatannaba kulambula okukola kwebyo ebisoomooza ebika byabwe.

Ensonga y’okulima nobwegassi Yeemu ku nsonga enkulu kabaka zeyalambika abantu be okutandikako omwaka guno

Bwabadde ateemateema ensonga eno katikkiro asabye abantu okulima kyokka nga bwebagattako okulunda basobole okufuna ekinene mu ntuuyo zaabwe, okulwanyisa obwavu ,okuweerera abaana ate nokwekulaakulanya.

Abakiise mu lukiiko luno bakubaganyizza ebirowoozo ku biragiro bya Ssemunywa .

Oluvannyuma olukiiko luyisizza ebiteeso 5 era nga bisomeddwa minisita avunaanyizibwa ku lukiiko ne kaabineti Owek Noah Kiyimba.

 

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *