rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Okulonda Kw’e Kyaddondo East: 6 Beebeewandiisizza Okuvuganya

Okulonda Kw’e Kyaddondo East: 6 Beebeewandiisizza Okuvuganya

\r\r\r\r

Emirimu mu kibuga Kasangati n’emirirano emirimu nga banabyafuzi bataano bewandisa okuddamu okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kyadondo East.

Kabadde kayisannyo nga abawagizi okuva mu nsonda ezenjawulo bawerekeddeko abantu babwe ku kitebe ky’e Ssaza Kyadondo Kasangati okusunsulwa.

Buli kika kya kidduka kibaddewo anti ne lukululana ezetika sseminti zireteddwa era nga bwobera okyakungiriza aba bobi wine, Sitenda Ssebalu owa NRM naye nasikayo bu bus bwa kyenvu olwo ne Kantinti nawendola.

Mu balala abasunsuddwa mwemubadde n’omusawo Dr. Sowed Kayongo Male, Babirye Lillian Kamome owe DP ne Nkunyingi Muwadda.

Ono avudde mu mbeera nayambalira Ssaabawandiisi wa FDC, Nandala Mafabi nti yamulemesezza eby’obufuzi.

Olutalo lugendedde ddala mu maaso okukakana nga luzzeemu n’okugobagana era abawagizi bebataasizza abakulembeze baabwe obutagwangana mu malaka.

Abamu ku beesimbyewo bawera nti akalulu kano bagenda kukawangula.

Abakulembeze ebebiwayi abesimbyewo mwebavudde eno yantanda yabwe eri abalonzi.

Akulira ebyokulonda mu Kasangati alaze enkola bwenatambula.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top