rnrnrnrnrn
You are here
Home > ABAWANDIISI BAFFE > Okutoloka Kwa Ssekabaka Muteesa Ii

Okutoloka Kwa Ssekabaka Muteesa Ii

\r\r\r\r

Olugendo lwa Ssekabaka Fredrick Luwangula Muteesa II, okuva mu lubiri lwe nga Kawenkene Obote, asindise Col. Idi Amin Dada, okumulumba teruggwa.

Mulimu ebifo eby’enkizo bingi Ssekabaka byeyayitamu wamu n’abantu ab’enjawulo abewaayo okutaasa Namulondo.

Wano e Ssentema mu Busiro, wewali ekifo Ssekabaka Muteesa II weyasanga basajjabe abaali bayimiridde mu bukuukuulu nga beewunaganya ku mawulire ge baali bawulidde mu Lubiri  ag’okulumba Kabaka wabwe.

Ediriisa Ssemakula Simwogerere omu ku baayambako Ssekabaka Fredrick Walugembe Luwangula Muteesa II, okudduka ekibambulira, era nga annambuzizza ebintu n’amakubo  mwebaamuyisa.

Ssemakula ne banne baakulemberamu Ssaabasajja Kabaka okumuyisa mu kkubo lye basuubira obutabaamu bulabe.

Kyokka bwe baali bagenda engeri akaseera ako bwe kaali akobunkenke, basanga abasajja abaali mu bukuukuulu abaabategeeza nti gye baali balaga amakubo gaali gonooneddwa.

Olw’obutaba nakyakukola, beeyongerayo, era ne batuuka ku mugga guno Kiduduma ng’abantu bagubotodde dda, okulemesa abaserikale ba Obote okuyitawo amangu, Ssemakula annyonnyola engeri gyebakikolamu Kabaka okusobola okuyitawo.

 

Wano Ssaabasajja Kabaka abawa ebiragiro. Bwebaamala okuyitawo nabo nebaddamu okugwonoona. Beeyongerayo okutuuka ku Luguudo oludda e Mityana. Wano nno baasalamu busazi nebakwata ku ludda lw’e Mpigi, wabula baba batuuka ku mutala Bbulamazzi nebaleengera ennyonyi mu bbanga.

Wano Kabaka ava mu Mmotoka okubaako weyekukuma. Addamu okubawa ekiragiro.

Oluvannyuma beeyongerayo. Bwebaatuuka e Katende nebabaako webakweka Mmotoka zabwe  okusooka okumanya ekifa mu maaso. Kyokka bwebatuuka ewa Kibuuka Omumbaale, Ssemakula alina kye yasaba Kabaka.

Ng’amaze okugula amafuta Kabaka yamusaba okumukomya awo kubanga we yali atuuse ng’ategeerawo.

Ku Ggombolola e Mpigi, webaakomya Kabaka,  Wabula aliko ekibuuzo kye yababuuza Ssemakula ky’agamba nti kyabakaluubirira okuddamu?

Kyokka ono ng’amaze ng’amaze okuddayo ku kyalo agamba lwategeera nti Ssaabasajja okusiima amuyambako Kabaka okudduka, kyali kimuzaalidde ebitula…Makaayi by’azaalira ku nsiko.

Wano yavuga mmotoka okujizza ewa mukamaawe , era yamala ssabbiiti namba nga takola kubanga omulimu gwali guweddewo.

Mukamaawe yamuleetera emmotoka endala n’agivugira emyezi esatu, wabula agamba nti yaddamu n’asaba emmotoka ye gye yali amanyidde era n’emuddizibwa.

Kyokka mu kugivugira ebbanga, emmotoka y’emu eno eddamu okumuleetera ebizibu. Agamba nti yasisinkana abaserikale abaamuyimiriza nebamubuuza akaana n’akataano.

SOT.. EDRIISA SSEMAKULA – YAYAMBAKO SSEKABAKA MUTEESA OKUDDUKA.

Ku mulundi guno, yayimirizibwa emirundi esatu, nga bw’abuuzibwa wabula mu mukukunyizibwa okungi, yasalawo abalimbe ng’alaba kyekiyinza okumutaasa.

Kyokka ssente webeeredde enzibu, Omuserikale eyasembayo okumubuuza yategeeza banne ng’omusajja ono bwe balina okumuleta yeyongereyo ku makuboge.

Emmotoka yabafuukira ekyambika, yali kika kya Mourice UYQ 887 nga ya langi ya Kiragala.

Ono ye yasigalawo ku banne beyali nabo nga bayambako Kabaka okudduka Kawenkene, battibwanga abaserikale ba Obote.

Ssemakula bwe yalaba ebyali bituuse ku banne yatya nnyo, era yasalawo okusiba engugu ze naasenguka e Ssentema…bwatyo neyewogoma e Busujju…nga n’okutuusa kati tavangayo.

Ediriisa Ssemakula Simwogerere mu birowoozo ebingi byeyalimu mu budde obwo yasalawo okutuula wansi emboozi ye egiteeke mu bu wandiike.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top