rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Obubenje: Eddwaliro Ly’e Nkozi Litongozza Emisinde Gy’okusonda Ensimbi ez’okuzimba Waadi

Obubenje: Eddwaliro Ly’e Nkozi Litongozza Emisinde Gy’okusonda Ensimbi ez’okuzimba Waadi

\r\r\r\r

Enteekateeka y’okudduka emisinde egy’okusonda ensimbi z’okuzimba woodi y’abantu abafuna obubebenje eddwaliro ly’e Nkozi, etongozeddwa omwepisikopi w’essaza lye Ekerezia Katoliki erye Masaka Yowana Batesta Kaggwa, mu maka ge  agasangibwa ku kasozi Kitovu.

Buli muntu anetaba mu misinde gino, wakusasula omutwalo gumu…ng’era emisinde, gyakubeerawo nga June 17.

Omuteesiteesi omukulu ow’emisinde jino ye Emmanuel Kalidinaali Wamala ng’omuddusi omukulu ye mu kubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Alintwala Kadaga.

Ono wakudduka kilomita 5 kyokka nga ye Omulangira David Kintu Wasajja yajja okukulemberamu abanadduka kilomita 10.

Wano Omusumba Kaggwa, wasinzidde n’akowoola abantu bonna okwetaba mu misinde gino. Omusumba Kaggwa, ayagala namakampuni ga Bbasi eziyita ku lugudo luno n’abagoba ba Kamunye bonna baddukirire omulanga guno.

REV. SR. NABUKALU – AKULIRA EDDWALIRO LY’E NKOZI agamba nti, obuwumbi bwa Uganda 3 bwe bwetaagibwa okukola omulimu guno.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top