rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Ng’Obuganda Bukuza Olunaku Lwa Gavumenti Ez’ebitundu, Ba Minisita Okuva e Mengo Batadise Okusimba Emiti

Ng’Obuganda Bukuza Olunaku Lwa Gavumenti Ez’ebitundu, Ba Minisita Okuva e Mengo Batadise Okusimba Emiti

\r\r\r\r

Ng’Obuganda bukuza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu abantu ba Kabaka mu saza Mawokota nga bakulembedwamu ba minisita okuva e Mengo batadise okusimba emiti ng’era batandikidde Nawandigi.

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obulimi, Owek. Haji Amis Kakomo, wano wasabidde ab’e Mawokota okukuuma ekibira kino nga bewala okuddamu okukisanyawo.

Emiti egisukka mu 3000, gyegisimbiddwa olunaku olwaleero era ng’emiti gino gyawebwayo ekitongole ky’eggwanga ekivunaanyizibwa ku bibira ekya National Forestry Authority.

Akulira ttabi ly’ekitongole kino e Mpigi, Mugisha Jonah, atutegezeza nti ekyabawaliriza okwegatta ku nteekateeka za Kabaka ez’okuzzaawo ebibira kwekwagala okukuuma obutondebwensi.

Mungeri yemu obwakabaka bwatadewo olusisira lw’ebyamateeka okusobozesa abantu bakabaka mu ssaza Mawokota okunyonyorwa amateeka era wano Minisita omubeezi, avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki, wasabide abantu okwetaba mu nteekateeka zino.

Abantu bazze bemulugunya ku mateeka ag’enjawulo naddala ago agabanyigiriza, nga abamu babadde bagala kumanya ku bya kweyimirirwa.

Ssaabasajja Kabaka yaasiimye okulabika ku mbuga y’e Mawokota e Butoolo…ng’era ebifo eby’enjawulo biyooyoteddwa.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top