rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Mivuyo Egyetobese Mu Taaka E Busoga

Mivuyo Egyetobese Mu Taaka E Busoga

\r\r\r\r

Olunaku olwaleero akakiiko akatekebwawo okunonyerezza Ku mivuyo egyetobese mu taaka mu ggwanga kawuliriza abakulu okuva mu Bwakyabazinga bwa Busoga abakulembeddwamu Katukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala, abategezezza nga abantu be Busoga bangi bwebatatute taaka nga ekikulu ekibaviriddeko okwavuwala n’okulumbibwa enjala buli kadde.

Katukiro awagidde ekya bantu okufuna ebyapa mu ttaka kyagambye nti kijja kuyamba nyo mukutumbula embeera z’abantu n’okutangira ababi b’etaaka

Ono asabye akakiiko okusaba gavumenti emyumyule mu mateeka agafuga abasaveya mu ggwanga byagambye nti bebasinze okukumpanya etaaka n’okubulakanya ebyapa.

Katukiro era asabye akakiko kano okuwaliriza gavumenti ezzeyo ebintu bya Busoga byekyakozesa n’okutusa olwaleero…nabo basobole okwekulakulanya.

Ku ky’obwavu Muvawala ategezezza nga Abasoga bwebasuse okuzala enyo abaana bebatasobola kulabirira ekibakumidde mu bwavu.

Wabula Muvawala awagidde ekya gavumenti okutwala etaaka lyona eritali liko kikolerwako kubanga bannanyini lyo bakotoggedde enkulakulana y’eggwanga.

 

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top