rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Ebidduka Mu Kulamaga: Poliisi Erambuludde Enteekateeka Enaagobererwa

Ebidduka Mu Kulamaga: Poliisi Erambuludde Enteekateeka Enaagobererwa

\r\r\r\r

Embeera ku biggwa bya bajulizi e Namugongo yeyongeddemu amaanyi ng’abalamazi bongedde okutuuka okuva mu bitundu ebyenjawulo ngabasinga batambuza bigere okutuuka mu kifo kino.

Mu kiseera kino emmotoka mu bitundu ebimu zitandiise okusimba olwa kasota era nga zigenda kasoobo awamu….olw’abalamazi okuba nga nabo bakozesa ekkubo lye limu.

Omuduumizi wa Poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano Norman Musinga alambuludde engeri abagoba beebidduka gye balina okugoberera.

Ku lunaku lw’abajulizi lw’enyini, emmotoka z’abantu abatali bakungu bagenda kuba nga tezikirizibwa kutuuka ku kiggwa e Namugongo olw’abalamazi kubanga basuubira okuba abangi.

Musinga agamba nti watereddwawo emmotoka bbaasi ezigenda okuba nga zisomba abalamazi okuva mu bitundu mwebanaaba batadde emmotota zabwe okutuuka mu masanganzira mwebanayiwanga abalamazi.

Poliisi erabudde, nti omuntu yenna anasangibwa ng’asimbye emmotoka ebbali w’oluguudo nga tewali wakusimba wakuvunnanibwa.

Akubirizza abantu okukeera ku mukolo guno.

Entekateeka y’omwaka guno teyawukanye nyo neeyo eyemyaka emirala ngemmotoka zabantu babulijjo zirekebwa km nga 8 nokusinga wo okuva ku biggwa bye Namugongo nga kuno kuliko ekya bakatuliki naba Anglican

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top