,

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga bwatyo nassa ebitongole ebikuumaddembe ku ninga okuketta abamenyi ba mateeka nga nemisango tejinaddizibwa.

Bino owomumbuga abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda olwa 27 olutuula olusooka olutudde leero ku mbuga enkulu e bulange e mengo.

Katikkiro ayogedde nekusonga ya safe houses kati ezitava mu mimwa gyabantu olwebigambibwa okuba nga abantu batugunyizibwaayo nalabula nti kino tekirina bwekiyamba ggwanga lino.

Gyebuvuddeko bannansi ba South Africa beesuulamu jjulume nebadda ku bantu abatali bannansi ba ggwanga lino nebabatirimbula nokwonoona ebyabwe, katikkiro avumiridde ekikolwa kino era nalabula bannauganda obutetantala kukikola kubanga abagwiira sikyekizibu kye ggwanga.

Ku nsonga y’okufa kweyali omukulembeze we ggwanga lya Zimbabwe Robert Mugabe katikkiro asabye abakulembeze nabantu ba bulijjo okukitwala nga ekyokuyiga baleme okuwaalirira nga ennyo ate n’obutanyigiriza balala.

Owomumbuga era alabudde abantu ku kabi akali mu kuvugisa ekimama ku nguudo nasaba abavunaanyizibwa ku bidduka okuvunaana abo bonna abamenya amateeka ku nguudo nga tebanasaanyawo bulamu bwa bantu.

Ezo zezimu ku nsonga enkulu kamalabyonna zayanjulidde abakiise bolukiiko lwa Buganda .

 

 

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *