rnrnrnrnrn
You are here
Home > ABAWANDIISI BAFFE > Kabaka Awangudde Omusango Gw’ettaka Kkooti Eyimirizza Ababadde Baagala Okuba Ery’e Lubowa

Kabaka Awangudde Omusango Gw’ettaka Kkooti Eyimirizza Ababadde Baagala Okuba Ery’e Lubowa

\r\r\r\r

Abaagala okubba ettaka ly’Obwakabaka mungeri ey’olukujjukujju nga beeyambisa amateeka ag’ekimpatiira balabuddwa okukikomya bunnambiro kubanga amateeka gabarindiridde.

Kino kiddiridde kkooti okusazaamu ekiragiro bannakigwaanyizi kyebabadde beeyambisa kubba ettaka ly’Obwakaba.

Kkooti enkulu esazizaamu ekiragiro ekibadde kyeeyambisibwa abantu ab’enjawulo okugezaako okubba ettaka ly’obwakabaka.

Ekiragiro kino kyaali kyaayisibwa kkooti nga kiriko abantu abatali bamu bekiwa olukusa okwezza ekitundu ku ttaka lya kabaka eliweza square mile 250.

Munamateeka mu wofiisi ya ssaabawolereza wa gavumenti ya ssaabasajja Twaha Mukasa agambye nti obwa kabaka bwagenda mu kkooti nga buwakanya ekiragiro kino kubanga kyaayisibwa mubukyaamu era omusango guno gwawanguddwa.

Ono ategeeza nti buno buwanguzi bwa maanyi obutukidwaako obw’okuyamba obwakabaka okulwanyisa bannakigwanyizi.

Munnamateeka Twaha Mukasa asabye abantu ba ssaabasajja okukwaatira awamu okusobola okunyweeza ettaka ly’obwakabaka okweewala abo abaagala okulinyagululula.

Ono agambye nti ekibinja kya banna mateeka okuva mu bwaakabaka beetegefu okweyambisa amateeka okusobola okulwanyisa ekibba ttaka mubwakabaka.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top