rnrnrnrnrn
You are here
Home > HEADLines > Gen. Edward Katumba Wamala Ayagala Omusolo Ku Mwenge N’ebiragalalagala Gwongezebwe

Gen. Edward Katumba Wamala Ayagala Omusolo Ku Mwenge N’ebiragalalagala Gwongezebwe

\r\r\r\r

Eyaliko omuduumizi w’eggye ly’eggwanga ow’okuntikko  nga kati ye minisita omubeezi ow’ebyenguudo   Gen.Edward Katumba Wamala  ayagala omusolo ku mwenge n’ebiragalalagala gwongezebwe. Ono agamba nti ebintu bino okubeera ku bbeeyi ya wansi kyekivuddeko abavubuka okubyettanira

Minisita omubeezi ow’ebyenguudo  Gen. Katumba Wamala asisinkanye abaali bawaddanga kyokka nebava ku mwenge wali ku Silver Spring Hotel  mu kawefube w’okulwanyisa okukozesa ebiragalalagala

Katumba Wamala  eno gu’asinzidde neyemulugunya ku bbeeyi y’ebiragalalagala okuba wansi okuli n’omwenge

Wamala agamba nti bannayuganda nga tebananenya Gavumenti  kukulakulanya bya nguudo nti zeezivaako obubenje, basaanye bakimanye nti n’omwenge gwebanywa guvaako obubenje

Ono awaze nga bwagenda okukola n’amanyi okulaba nga aggusa ensonga eno mu Palamenti  okulaba nga enkozesa y’ebiragalalagala ekendeera.

Bbo kubamu abaali abanywi b’omwenge wabula nga kati banyuka,abegatira mukibiina ki Focus On Recovery Uganda,batotodde ebimu ku bizibu ebiri mu kunywa omwenge naddala ogw’obuveera.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top