rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Omwala Gufuuse Kattiro: Kato Lubwama Alumbye Gavumenti

Omwala Gufuuse Kattiro: Kato Lubwama Alumbye Gavumenti

\r\r\r\r

Gavumenti erabuddwa ku mwala gwe Nalukologo nga guno guzze guta abantu abanjawulo naye nga mpaawo kikoleddwa. Kiddiridde okufa kw’omwana omulala mu mwala gwegumu ssabbiiti ewedde

Omwala guno gufuuse akattiro nga ne ssaabbiiti ewedde, waliwo omwana eyagugwamu n’afiirawo. Kati nno omubaka we Lubaga South Kato Lubwama alabudde gavumenti ku mwala guno naddala buli nkuba lw’etonnya.

Kyokka Kato Lubwama asanguddewo essuubi ly’okwekalakaasa ng’agamba nti kuno kwadiba. Omubaka Kato Lubwama yabadde ayogerako eri abavubuka wansi w’ekibiina kya Mpomba nga ku mukolo gwegumu sentebe wa NRM mu ggombolola ye Lubaga Abdul Kitatta kweyasinzidde n’alabula ababaka ba palamenti obutetantala kujjawo buyinza bwa bantu mu Kampala

Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze abenjawulo omuli ababaka ba paliyamenti, bakansala b’ekitundu kino n’abantu abalala bangi

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top