rnrnrnrnrn
You are here
Home > AMAWULIRE AGEESIGIKA > FDC BAKUKKULUMA

FDC BAKUKKULUMA

\r\r\r\r

Bannakibiina ki FDC bekokkodde gavumneti ku by’okukwata era neggula emisango ku yabakwattira bendera mu kulonda okwakagwa nga tebabawadde na mukisa omuntu wabwe okwewozaako.\r\n\r\nDr. kiiza besigye yakwatibwa ku lunaku lwokusatu naggalibwa e moroto.\r\n\r\nOluvanyuma lwokwatibwa kwa  Col . Dr. kiiza Besigye natwalibwa mu bitundu bye moroto era naggulibwako omusango gwokulya munsi ye olukwe, banna kibiina batandiise okubuna obufofoofo nga kati bateseteese olunaku lwa bbalaza okutwala bannamateeka babwe okwongera okutaasa omuntu wabwe.\r\n\r\nPulezidenti weki biina ki FDC gen.mugisha muntu avumiridde enkola ya gavumenti obutagoberera bulungi mateeka okuteeka omusango ku col besigye nga nessaawa za kkooti zabadde ziweddeko.\r\n\r\nMuntu ategezzeza nti kati  ku lunaku olwenkya bagenda kutuula nabakakiiko akakulu akauga FDC basalewo ekiddako.\r\n\r\nWabula kino kijjide mu kiseera nga bamu ku bakungu beekibiina kino bagalirwa mu maka gabwe nga kuno kuliko wafula ogutu, semujju nganda , micheal bakaziruka saako nabalala bangi.\r\n\r\nCOL DR. kiiza beesigye olunaku lwajjo teyakirisiziddwa nakwewoozaako naddizibwayo mu kkomera ery’emoroto .\r\n\r\nByo ebyokwerinda ku kitebe ki FDC bikyanywezeddwa era nga poliisi erabiddwako nga yetaala wabula ebifo ebimu nga tebakiriza abamaulire kugenda yo..\r\n\r\nOlunaku lwajjo gavumenti yagudde omusango gwokulya munsi ye olukwe oluvanyuma lwokugeeza okwelayiza nga gamba nti ye pulezidenti weggwanga songate ssemateeka weggwanga agamba nti walina kubeera puleziedenti omu alondeddwa ngayita mu mateeka.\r\n\r\nBBS TEREFAYINA\r\n\r\nAGEESIGIKA\r\n\r\n 

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top