rnrnrnrnrn
You are here
Home > AMAWULIRE AGEESIGIKA > Enteekateka z’okulayiza ababaka

Enteekateka z’okulayiza ababaka

\r\r\r\r

Enteekateka z’okulayiza ababaka b’olukiiko lw’eggwanga abaggya ziwedde era nga olunaku olwenkya abalondebwa lwebatandika okukuba ebirayiro. \r\nAbaddukanya olukiiko lw’eggwanga olukulu olwaleero basiibye beetala nga bategeka ekifo ababaka webagenda okukubira ebirayiro byaabwe olunaku lw’enkya.\r\nWetwogerera enteekateeka ziwedde era ng’omubaka agenda kulayira ku ssaawa bbiri n’ekitundu zenyini.\r\nAbabaka abasoba mu bina beebagenda okulayira olunaku lw’enkya era nga bagenda kugoberera nyukutta z’amanya gaabwe okuviira ddala ku A okutuuka ku Z\r\nAbabaka abanaalayira beebo bokka abateekebwa mu kyapa kya gavumenti ekyafulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda.\r\nOmuwendo gw’ababaka abagenda okulayira gusoba mu bina era nga waliwo okutya nti ekifo bano webanateeseza wandiba nga tewabamala bulungi olw’ensonga nti palamenti yazimbibwa nga erina kutuuza ababaka kinaana.\r\nAababaka abamu bagamba nti kino eky’ababaka abangi kyandivaako abamu obutateeseza bantu bulungi.\r\nMu kaseera keekamu omubaka wa Rubaga north Moses Kasibante nga nti ababaka bangi nnyo era nga kino kyeyoleka lwatu mu palamenti ey’omwenda olw’ababaka abamu okubulwa webatambuliriza emirimu gyabwe.\r\nOkulayira kugenda kukulemberwaamu Ssabalamuzi w’eggwanga, era nga wetwogerera palamenti terina sipiika oluvanyuma lw’ekisanja ky’ababaddeko okuggwako\r\nTwogeddeko era n’abantu ba bulijjo ku byebasuubira mu babaka abapya nebatwanuukula\r\nPalamenti ey’ekkumi yakutandikirawo emirimu amangu ddala nga buli omu amaze okulayira era ng’ensonga esookerwaako yakulonda sipiika n’omumyuka\r\nOkulayira kuno okutandika olunaku lw’enkya kwakumala ennaku ssatu.\r\n\r\nBBS TEREFAYINA \r\nAGEESIGIKA

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top