rnrnrnrnrn
You are here
Home > HEADLines > Empaka Z’amasaza: Abawulira Emisango Batandise Okukola

Empaka Z’amasaza: Abawulira Emisango Batandise Okukola

\r\r\r\r

 Akakiiko akasookerwako akawulira emisango gy’emipiira gy’Amasaza katandise olwaleero okukola omulimu ogwakakwasiddwa.

Nga ebula omupiira gumu  emipiira egisoka mu kibiija egy’Amasaza okukomekelezebwa  ttiimu zogedde okuloopa zinaazo emisango egy’enjawulo.

Mu ziroobye, mwemuli essaza BUDDU ne Bulemeezi nga bano baalopa essaza MAWOKOTA olw’okulemesa abazannyi babwe okubazannyira

Abalala abalopye Busiro yaloopa Kyaddondo olw’okuzanyisa omuzanyi atali atali mutuufu kyokka akakiiko akakulira Patrick Nsanja kagamba nti ono abadde alina ebiwandiiko ebituufu.

Busiro egamba nti tematidde nansalawo ya kakiiko kano.

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’okwewummuzzaamu Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, yataddewo akakiiko akajulirwamu emisango gino ssinga babeera tebamatidde nansala yakakiiko akasooka ng’era kakulemberwa Prof. Bukenya Kigongo.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top