rnrnrnrnrn
You are here
Home > EBY'EMIZANYO > Empaka Z’africa: Abazannyi Beesozze Enkambi

Empaka Z’africa: Abazannyi Beesozze Enkambi

\r\r\r\r

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ayise abazanyi mukaaga okuva mu ttiimu KCCA FC okwegatta ku ttiimu enazanya omupiira gwa Senegal ne Cape Verde

Oluvanyuma lwa ttiimu ya KCCA FC okukuba ttiimu ya Rivers United goolo 2:1 Ku lw’omukaaga, Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ‘The Uganda Cranes’ Multin Seredojovic Micho ayise abazanyi mukaaga okuva mu ttiimu eno okwegatta Ku ttiimu enezanya Senegal olunaku lw’enkya ssaako ne ttiimu ya Cape Verde Ku lw’omukaaga

Uganda Cranes yakuzanya Senegal olunaku lw’enkya mu mupira gw’omukwano nga yetegekera okuzanya ttiimu ya Cape Verde ku lw’omukaaga mu gw’okusunsula abaneetaba mu mpaka za African Cup of Nation 2019

Omuwogezi w’ekibiina ekiddukanya omuzanyo gw’omupiira mu ggwanga ekya FUFA Ahmed Hussien agamba nti abazanyi bano bamaze okutuuka nkambi era bakukulemberamu ttiimu enazanya enkya

Hussien ayongedde okutunyonyola ku kapiteeni wa Uganda Cranes era omukwasi wa goolo Denis Onyango

Mu bazanyi b’a yise okuva mu KCCA FC mulimu omukwasi Benjamin Ochan, abazibizi Denis Okot, Isaac Muleme ne Timothy Awanyi sako nabatebe Geoffrey Serunkuma ne Derrick Nsibambi

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top