rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Ebitundu N’abantu Tutunuulidde Ekyalo Ky’e Namugongo Mu Kiira Town Council Lw’Abajulizi Abafiirayo

Ebitundu N’abantu Tutunuulidde Ekyalo Ky’e Namugongo Mu Kiira Town Council Lw’Abajulizi Abafiirayo

\r\r\r\r

Banabyafaayo ab’enjawulo bawanuuza nti mu mwaka 1760 obwa Kabaka obwaliwo mu kiseera ekyo bwatandikawo ekifo eky’okubonererezamu abawereza bonna abagyemu era nga abantu abaliyo mu nkumi nenkumi bebalugulamu obulamu okutukira ddala mu 1886 n’abajulizi bwerwabazingiramu.

Kigambibwa nti omusaayi gwa bano ogwayika mu kifo kino gwegwakomya okutibwa kw’abantu mu kifo kino era bonna abali bakuliramu okubonereza ne balokoka nebasalawo okwenenya ebibi byabwe nga mwemwali Kabaka Mwanga eyasalira abajulizi ogw’okufa, ko ne Mukajanga eyakulembera ngamu okuwa ebibonerezo.

Kiwanuzibwa nti erinya Namugongo lyava ku ngeri abantu gyebakululwangamu okutuuka mu kino nga bangi batukangayo nga emigongo gyona gyiweddeko eddiba.

Omusaayi gw’Abajulizi ogwayika e Namugongo tegwakoma Ku situla njiri ya Kulisitu wabula kwasitula nenkulakulana ya Namugongo era nga kati ky’ekimu Ku bitundu ebitesimbikako wano Ku njegoyego z’ekibuga Kampala.

Okuzuulira ddala ekitufu ku gyenvudde w’ekitundu kino nawayizamu n’e Mzee Alozio Mutebi nga mwana nzalwa y’enamugongo eyampadde embozi Ku ngeri Namugongo gyazze agyukamu.

Ono agamba nti ensi nga bwegenda ekyuka ne Namugongo yakyukira ddala era nga kati okugulayo ekibanja ogenda wemyumyudde bulungi.

Wabula Mzee Mutebi agamba nti enkulakulana eri Namugongo bo nga abaana enzaliranwa tebagifunyemu  wabula eganyudde bagwira nga abali bananyini kitundu bafuka bapangisa.

Enkulakulana ya Namugongo yasikiriza dda bamusiga nsimbi okutekawo ensimbi zabwe ea kati omuntu takyetaaga kujja mu kibuga kampala anti buli kimu gyekiri

Olunaku lwa nga satu June okugyukirirwa Abajulizi abatuze ba Namugongo balwevuma era bangi basaba nti singa kisoboka lwanditwalidwako mu kitundu ekirala anti mu basabi abagya mwemubeera n’abanyakuzi

Wabula banaddini abatali bamu bakkiriza singa omusayi gw’Abajulizi tegwayika Namugongo ebintu tebyandibadde nga webiri olwa lero.

Bano bagamba nti Namugongo takomye Ku nkulakulana yoka wabula nemukukiriza abantu beyongeredde ddala

Nga enaku z’omwezi satu omwezi ogw’omukaga omwaka guno gyigenda kuwera emyaka kikumi asatu mu gumu bukya abajulizi battibwa ate nga gyemyaka atano mu esatu bukya bano balangiribwa mu luubu lw’Abatukirivu.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top