, ,

Ebitongole Ebikuumadde Birangiridde Enteekateeka Ey’okufutiza Abakyamu

Ebitongole ebikuumaddembe birambuludde enteekateeka y’okulwanyisa ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, bagenda kubufufuggaza

 

Police efulumizza enteekateeka empya mwegenda okuyita okulwanyisa obumenyi bw’amateeka oluvannyuma lwa president okuvaayo nagiwa ennaku bbiri erage bweyimiridde mu kulwanyisa abakyamu abatigomya abantu naddala mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.

 

Mu bireetedwa mulimu n’okuwandiisa abakozi b’awaka bonna okumanya ebibakwatako kwossa okwongera amanyi mu kulondoola enkola ya camera enkessi.

 

Kyokka, Abakugu mu by’okwerinda babikubyemu ebituli nga bagamba nti police nebwebaleeta ebyenkanawa nga tebasoose kulongoosa mbeera abasirikale gyebalimu bamala bya mubulago.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *