rnrnrnrnrn
You are here
Home > HEADLines > Ebimotoka Bizinze Centenary Park, Abaddukanya Ekifo Bawanda Muliro

Ebimotoka Bizinze Centenary Park, Abaddukanya Ekifo Bawanda Muliro

\r\r\r\r

Enkaayana ku ttaka lya Centenary Park zirabika sizakuggwa leero anti ziba ng’ezikkakkana endala nezibalukawo.

Olwaleero tulakita ziweetiiye zikedde kulumba kifo kino okukimenya wabula kino tekisobose era wabaddewo okuwanyisiganya ebisongovu.

Ensonga z’okumenya ekitundu ku ttaka lya Centenary Park zifuuse namulanda anti buli lukya wabaawo enkaayana wakati wa KCCA ne Nalongo Estates kwani mutuufu asaanide okuddukanya ekifo kino.

N’olwaleero tulakita ziweetiiye zikedde kulumba kifo kino okumenya ebizimbe ebiriko nga baagala okuyisaawo emikutu gy’amazzi.

Kino kitabudde addukanya ekifo kino, Sarah Kizito ng’agamba luno lukwesikwesi lwakubabbako ttaka lino. Kizito yeewunya lwaki KCCA eremeddwa okugoberera amateeka.

Alumiririza akulira abakozi mu KCCA, Jenifer Musisi nti y’amulwanyisa era agamba nti alina baakolera abaagala okwezza ettaka lino.

Terefayina ekitegedeko nti KCCA wadde eremeddwa okumenya ekifo kino olwaleero, enkya baakubukeereza nkokola  okukimenya.

Enkaayana ku nsonga z’ekifo kino tezirobedde bakozi b’akitongole ky’amazzi kugenda maaso na mirimu gyabwe era bangi balabiddwako nga bakakalabya.

Omwogezi wa KCCA Peter Kauju agamba nti tewali kigenda kudda mabega  kunteekateeka eno wabula n’abanalongo baweze okwerwanako.

Kino kitabudde bakansala ba KCCA nti kino kubayisaamu maaso nebalayira okufaafagana naye. Ye eyali meeya wa Kampala Central Godfrey Nyakaana  agamba nti yewunya Musisi okuwamba obuyinza bw’abakulembeze abalonde nga byayagala byakola mukifo ky’okukola ebisaliddwawo.

Guno mulundi gwakusatu ng’enkaayana ku ttaka lya Centenary park zibalukawo mu bbanga lya myaka 5 gyoka, Kyokka wadde President Yoweri Museveni yawa dda ebiragiro ku nsonga eno olutalo luno lukyagaanye okuggwa.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top