rnrnrnrnrn
You are here
Home > PULOGULAAMU (Page 2)

Katikkiro Mayiga akalaatidde abasomesa n’abazadde okukulizza abaana mu mpisa

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akaalatidde abantu ba Ssaabasajja Kabaka naddala abasomesa okugunjula abaana n’abavubuka abeesimbu, abeetowaze, abawa bantu bannabwe ekitiibwa ate abakkiririza mu kwekolerera bave mu kulowooleza mu byobwerere. Obubaka buno Kamalabyonna abuwadde abayizi, Abasomesa n’abazadde ba Light Secondary and Vocational School e Bulenga gyagguddewo ekizimbe ekibbudwa mu linnya

Ebyokwetonda kw’ Omulamuzi eyawa ekiragiro ekigoba abe Lusanja bibatabudde nebekalakaasa

Abatuuze abasoba mu 350 bebamenyera amayumba gaabwe kati omwezi gumu n’ekitundu ogwakayita amakya galeero bakedde kulaga butali bumativu oluvanyuma lw’okufuna amawulire g’omulamuzi Esther Rebecca Nansambu atwala Kkooti y’e Nabweru nga yetonda olw’okuyisa ekiragiro ky’okumenya amayumba g’abano nga tasoose kutuuka mu kifo omugagga Medard Kiconco weyamutegeeza nti tewali bantu okujjako ebifulukwa.

Top