Gambuuze

, , ,

PLE ATANDISE : Ekikoze enkyukakyuka mu ngeri ebigezo bya P7 gyebikolebwamu

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga kikoze enkyukakyuka mu ngeri ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu gyebikolebwamu.

 

 

Bano bataddewo ennamba ey’enjawulo, nga buli ssomero liwereddwa ennamber eno era yeteekeddwa mu kifo ky’essomero…okwewala okubbira

, , ,

MAKERERE TEBINAGGWA : Poliisi ezzeemu okukwata Julius Kateregga

Poliisi ezzeemu okukwata Julius Kateregga azzeemu okukwatibwa nga kigambibwa nti abadde akuma omuliro mu bayizi.

Bano babadde bateeseteese olukungaana okusobola okunyonyola abayizi ekigenda mu maaso mu Ssettendekero, wabula nga Poliisi egamba nti kino kimenya mateeka

, , ,

Abatuuze b’e Lusanja basaba omukulembeze w’eggwanga aggye abataase

Abatuuze b’e Lusanja basaba omukulembeze w’eggwanga aggye abataase

Abatuuze b’e Lusanja bakyasaba omukulembeze w’eggwanga aggye abataase, oluvanyuma lw’okugoba ku ttaka kwebaali.

Bano Kkooti yabawa omwezi gumu gwokka okwamuka ettaka lya Medard Kiconco, wabula baddamu mangu okujulira…naye nga tebalina ssuubi ddene mu binavaayo.

, , ,

Poliisi ne Col. Dr. Kiiza Besigye bazzeemu, bamukwatidde Namboole

Poliisi ne Col. Dr. Kiiza Besigye bazzeemu, bamukwatidde Namboole

Poliisi ekubye omukka ogubalagala wamu n’Amazzi mu bawagizi ba Forum for Democratic Change, ababadde bazze mu lukungaana lw’ekibiina e Namboole.

Olukungaana luno olubaddemu ne Col. Dr. Kizza Besigye, lubadde lwa bakulembeze ba FDC, kyokka nga Poliisi egamba babadde tebalina lukusa

, , ,

Bannamawulire battunse ne Poliisi

Bannamawulire battunse ne Poliisi, ebalemesezza okugitwalira ekiwandiiko ekivumirira okubatulugunya

 

Poliisi ekubye amasasi n’omuka ogubalagala mu bannamawulire abakedde okutambula mu mirembe nga bawakanya ekya Poliisi okubakuba nokubatulugunyanga ngabakola ogwabwe.

 

Bano baali baalalika Poliisi nti bagenda kutambula mu mirembe batwale okwemulugunya kwabwe eri Ssaabaduumizi wa Poliisi, kyokka babadde bakatambulako katono nebabakwata.

, ,

Ebitongole Ebikuumadde Birangiridde Enteekateeka Ey’okufutiza Abakyamu

Ebitongole ebikuumaddembe birambuludde enteekateeka y’okulwanyisa ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, bagenda kubufufuggaza

 

Police efulumizza enteekateeka empya mwegenda okuyita okulwanyisa obumenyi bw’amateeka oluvannyuma lwa president okuvaayo nagiwa ennaku bbiri erage bweyimiridde mu kulwanyisa abakyamu abatigomya abantu naddala mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.

 

Mu bireetedwa mulimu n’okuwandiisa abakozi b’awaka bonna okumanya ebibakwatako kwossa okwongera amanyi mu kulondoola enkola ya camera enkessi.

 

Kyokka, Abakugu mu by’okwerinda babikubyemu ebituli nga bagamba nti police nebwebaleeta ebyenkanawa nga tebasoose kulongoosa mbeera abasirikale gyebalimu bamala bya mubulago.

,

Obutale Bw’ekibuga : Minisita Ayimirizza Ekiragiro Ky’olukiiko Lwa KCCA

Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya ayimiriza ekiragiro kya KCCA ekigoba abakulembeze b’obutale obuliwo kati, budde mikono gya KCCA okutuusa ng’eteeka erifuga okulonda kw’obutale liyisiddwa. 

Okusinziira ku Minisita, ekiragiro kino kyakwongera obuvuyo mu butale okusinga okugonjola ebizibu by’abasuubuzi

, ,

Obulema Ssi Buteesobola: Omumbejja Nassolo Avumiridde Abanyooma Abaliko Obulemu

Omumbejja Joan Nassolo aguggumbudde abantu bonna abakyalina endowooza nti omuntu aliko obulemu abeera talina makulu.

Okwogera bino abadde yetabye ku mukolo ogw’okukumba nga gwegukulembedde ebijaguzo by’essomero ly’abaana abaliko obulemu erya Kampala Spastics, erigenda okujaguza emyaka 50

, ,

Ttiyaggaasi E Mityana : Poliisi Ettunse N’abawagizi Ba People Power, Poliisi Bigisobedde

Poliisi erinnye eggere mu lukiiko lwa People Power e Mityana, babakubyemu omukka ogubalagala

Poliisi erinye eggere mu lukungaana lw’ekisinde kya People Power olubadde lutegekeddwa mu maka ga Ssentebe wa DP e Mityana Expedito Kalyango.

 

Okusinziira ku Poliisi, bano babadde tebalina lukusa lubakkiriza kukuba lukungaana…nabo kyebavudde babagumbulula.