Amawulire Ageesigika, Gambuuze ne Gyotobadde

Okutemula Nagirinya Ne Kitayimbwa: Poliisi Ezudde Obujulizi Obulala

Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abatta Maria Nagirinya wamu ne Ssaalongo Ronald Kitayimbwa.

Abavubuka abazze bakwatibwa ku bigambibwa nti baliko kyebamanyi ku butemu buno Poliisi egenda ebatwala mu bifo eby’enjawulo nga bwekungaanya obujulizi

Poliisi efulumizza ebifaananyi ebyakwatibwa Kkamera enkessi eza CCTV

Poliisi efulumizza ebifaananyi ebyakwatibwa Kkamera enkessi eza CCTV, ebiraga ebyaliwo nga omuwala Maria Naggiriinya awambibwa ne Dereeva we Ssaalongo Ronald Kitayimbwa. Ebifaananyi bino emmotoka n’omusajja agambibwa nti y’omu ku baawamba Naggiriinya ne Kitayimbwa okuva e Lungujja, nga 28 omwezi oguwedde.

,

Okwogera kwa Kabaka my kuggulawo Olukiiko

OKWOGERA KWA KABAKA MU KUGGULAWO OLUKIIKO LWA BUGANDA OLWA 27 NGA 19TH AUGUST 2019

Tubaanirizza mwenna abazze ku mukolo ogwa leero, tuyozayoza speaker w’olukiiko luno omuggya owekitiibwa patrick mugumbule olw’okulondebwa era tumwagaliza okukola obulungi. Twebaza nnyo owekitiibwa nelson kawalya abadde speaker olw’okukubiriza obulungi olukiiko okumala emyaka mukaaga era tumwagaliza obulamu obulungi. Mu ngeri yeemu tuyozayoza baminisita abazzeemu okulondebwa era nebakwasibwa obuvunaanyizibwa obusinga kwobwo bwebabadde nabwo, era nabo tubaagaliza obuweereza obulungi.
Tuddamu nate okwebaza baminisita abaawummula emirimu gyebakolera obwakabaka okumala emyaka mukaaga, bannaffe beebale nnyo beebalire ddala.


Olwa leero nina ensonga nnya ez’okwogerako;
1. Twebaza nnyo abateesiteesi b’emikolo egy’amatikkira aomwaka guno, emikolo gyali mirungi nnyo era gyatusanyusa nnyo, mwebale nnyo mwebalire ddala.
2. Twebaza abakulu b’ebika eyo gyetwalambula obutaka, baatwaniriza bulungi era twayiga bingi ebikwata ku butaka obwo era tubeebaza nnyo. Ekigendererwa mu kulambula kuno, kwekumanya embeera obutaka gyebulimu era n’okulaba engeri obwakabaka gyebuyinza okuyamba mu kulaakulanya obutaka obw’abantu baffe. Obutaka gyetutannatuuka tusuubira okugendayo gyebujja awo mu maaso era kirungi bannaffe abo batandike okweteekateeka. Tukubiriza abazzukulu bakwatizeeko ku bajjajja baabwe ku nsonga eyo enkulu ey’okuteekateeka okulambula okwo.
3. Tuddamu okubagamba obukulu bw’obwegassi mu mirimu gyaffe, era n’okwongera okulima emmwanyi awamu n’ebirime ebirala eby’ettunzi.


4. Twebaza nnyo bannaffe aba buganda heritage association ekitongole ekiri e bungereza, abaakola enteekateeka ekipande ekitongole nekiteekebwa ku nnyumba ssekabaka muteesa ii weyasulanga okuva mu april 1968 okutuusa weyakisa omukono mu november 1969. Bannaffe abo baakola ekintu kikulu nnyo era kisaanidde abantu baffe abakyalako e bungereza nabo baweyo akaseera okukyalira ekifo ekyo balabe embeera ssekabaka gyeyayitamu. Ekirowoozo eky’okuteeka ekipande ekyo ekitongole ku nnyumba eyo kyaleetebwa omubaka wa kabaka e bungereza owek ronald lutaya, awamu n’omwami bosco nnyombi n’omukyala ann nannyonga, oluvannyuma beegattibwako abaami, ssempiira kasozi, micheal kiggundu, steven kafero, william nkata ne richard kigula, abo bonna nga bali mu kitongole kya buganda cultural heritage association e bungereza. Abayima b’ekibiina ekyo be bannaalinya elizabeth nakabiri ssengaaga, omwami edward lubega, n’omukyala nantimba ddamulira, ssaava yiga matovu ne nnaalinnya kagere, nabo baayamba nnyo okutambuza omulimu ogwo.
Mbasaba, era tubaagaliza okuteesa obulungi mu lukiiko olujja era olukiiko ndugguddewo.

, ,

Rotary Cancer Run : Katikkiro afunye emijoozi

Rotary Cancer Run : Katikkiro afunye emijoozi gyanaddukiramu emisinde egitegekeddwa aba Rotary ne Centenary Bank.

Katikkiro Akubirizza bannayuganda okwetaba mu misinde gino ng’omu ku kaweefube w’okutumbula eby’obulamu.

 

Pride Microfinance Edduukiridde Abaana Ba SOS

Pride Microfinance Edduukiridde Abaana Ba SOS

Bannayuganda basabiddwa okulabirira obulungi abaana baabwe ate babakuze bulungi basobole okubeera ab’omugaso mu nsi yabwe.
Abadduka ekibiina kya SOS ekirabirira abaana abataliiko mwasirizi bebasabye bannayuganda okukomya omuze ogwokusuula abaana be bazaala

,

Omumyuka Wa Katikkiro Owek Twaha Asisinkanye Aba Pewosa

Omumyuka Wa Katikkiro Owek Twaha Asisinkanye Aba Pewosa

Katikkiro wa Buganda asiimye bannakibiina kya Pewosa olwokubeera a abasaale mu kutuukiriza ensonga ssemasonga ettaano nti kino lyekkubo erinatuusa buganda ku ntikko gyerubiirira

,

Ssaabasumba Awabudde Abakulu

Embeera Eriwo Kati Erina Okubeerako Byebayigiriza

Ssaabasumba w’esazza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakristu okukozesa ekiseera ky’Amazuukira okwezza obuggya mu mpisa n’okuleka ebikoleobero ebizizza eggwanga lyaffe emabega

,

Kkooti Ensukkulumu Esazeewo ku Age Limit

Abalamuzi 4 3 Basazeewo Okuggya Ekkomo Ku Myaka

Kkooti ensukulumu leero esazewo egoye ku nongoserezza ezakolebwa mu ssemateeka ababaka mwebagyira akawayiro 102b mu ssemateeka w’eggwanga

, ,

Omwoleso Gwa Cbs Pewosa Minisita Haruna Kasolo Agguddewo Omwoleso Gwa Pewosa

Omwoleso Gwa Cbs Pewosa Minisita Haruna Kasolo Agguddewo Omwoleso Gwa Pewosa

Minisita avunaanyizibwa kubya Cirles n’obukolero obutono Hajji Haruna Kyeyune Kasolo, avumiridde enkola yekitongole ekivunanyizibwa kumutindo ki UNBS olwokusabanga abalina obukolero obutono enguzi olwo balyooke bakakase ebintu byaabwe