Amawulire Ageesigika, Gambuuze ne Gyotobadde

Enkuba N’amataba, Enkuba Efuddemba Etataaganyizza Abantu Ba Ssaabagabo

Abatuuze mu Gombolola y’e Makindye Ssaabagabo abaakoseddwa enkuba negyebuli kati bakyayanika ebintu byabwe ebyayonooneddwa.

Wabula abakulira ekitundu kino bagamba emyala egimu giri bwegiti lwa bbula lya nsimbi ate emirala abagirinaanye baagaana okuwaayo ettaka wagaziyizibwe.

Abaana Ba Kitayimbwa Basomye, Abazirakisa Babakwatiddeko Ku Bisale By’essomero

Abantu ab’omutima omulungi bakyagenda mu maaso n’okudduukirira amaka g’omugenzi Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ono nga yawambibwa ne Maria Nagirinya oluvanyuma nebatemulwa.

 

Waliwo abazirakisa babiri abeyamye okukwasizaako namwandu Nnaalongo Sofia Nakawuki naddala mu kuweerera abaamulekwa

Bannamateeka B’abavunaabibwa Okutta Kaweesi Bazzeeyo Mu Kkooti

Puliida w’Abasajja abavunaanibwa okubaako ne kyemanyi ku kufa kw’eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga omugenzi Andrew Felix Kaweesi, Anthony Wameri addukidde mu kkooti ng’ayagala bayambibwe baweebwe abantu baabwe abaakwatibwa gye buvuddeko.

Kinajjukirwa nti ku lwokusatu lwa wiiki ewedde, abavubuka bano kkooti yabakkiriza okweyimirirwa kyokka nebaddamu nebakwatibwa abasajja, ekitongole ky’amagye bekikagamba nti kibamanyi.  

,

Abakungu Ba Uganda Ne Rwanda Batudde Okuteesa Ku Kwerumaaluma

Baminisita abavunaanyizibwa ku nsonga z’Amawanga amalala mu Uganda ne Rwanda bakakasizza nga bwebagenda okufuba okulaba nga bamalawo obutakkaanya obuliwo wakati w’amawanga gombi.

 

Bano babadde mu lukungaana olw’okulaba engeri gyebagenda okuteeka mu nkola endagaano ye Luanda

,

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga bwatyo nassa ebitongole ebikuumaddembe ku ninga okuketta abamenyi ba mateeka nga nemisango tejinaddizibwa.

Bino owomumbuga abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda olwa 27 olutuula olusooka olutudde leero ku mbuga enkulu e bulange e mengo.

Katikkiro ayogedde nekusonga ya safe houses kati ezitava mu mimwa gyabantu olwebigambibwa okuba nga abantu batugunyizibwaayo nalabula nti kino tekirina bwekiyamba ggwanga lino.

Gyebuvuddeko bannansi ba South Africa beesuulamu jjulume nebadda ku bantu abatali bannansi ba ggwanga lino nebabatirimbula nokwonoona ebyabwe, katikkiro avumiridde ekikolwa kino era nalabula bannauganda obutetantala kukikola kubanga abagwiira sikyekizibu kye ggwanga.

Ku nsonga y’okufa kweyali omukulembeze we ggwanga lya Zimbabwe Robert Mugabe katikkiro asabye abakulembeze nabantu ba bulijjo okukitwala nga ekyokuyiga baleme okuwaalirira nga ennyo ate n’obutanyigiriza balala.

Owomumbuga era alabudde abantu ku kabi akali mu kuvugisa ekimama ku nguudo nasaba abavunaanyizibwa ku bidduka okuvunaana abo bonna abamenya amateeka ku nguudo nga tebanasaanyawo bulamu bwa bantu.

Ezo zezimu ku nsonga enkulu kamalabyonna zayanjulidde abakiise bolukiiko lwa Buganda .

 

 

 

,

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde enkya ya leero nelukubaganya ebirowoozo ku biragiro Nyinimu Ssaabasajja Kabaka byeyabalagira okussa mu nkola bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Enkya ya leero abakiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu bakubaganyizza ebirowoozo ku nsonga kabaka zeyabalambika bweyali aggulawo omwaka gw’olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Olukiiko lulambikiddwa omukubirizibwa w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule era lutandise nakusaasira abo abafunye ebizibu ate n’okujagulizaako abo abaliko byebatuuseeko.

Kamalabyonna ayanjudde emikolo Kabaka gyasiimye okulabikirako okuva olukiiko lwelwasembayo okutuula.

Egimu ku mikolo kabaka gyasiimye okulabikirako kwekuli okulambula obutaka bwekika kye ffumbe ne nemba, kamalabyonna wano azeemu nakaatiriza ensonga yokuwandiisa ettaka lye mbuga ze bika mu bayima nti kino kyakuyamba okumalawo ekibba ttaka.

Ku nsonga eno katikkiro eraazzeemu nalabula abantu ku nsonga ze nkayana mu bika nti yye wakugendera ku nsalawo kabaka gyaba awadde nga bwenatambula.

Ensonga ye bbago lye teeka ku mwanyi nayo obwakabaka tebunajijjako ngalo era katikkiro ategeezezza obuganda nga bweyawandiikira gavumenti ebirowoozo byobwakabaka ku bbago lino era nga balindiridde ekinavaayo.

Egimu ku mirimu egibadde mu wofiisi ya katikkiro gyanokoddeyo kwekusisinkana ekitongole kyebyobulamu mu gavumenti ya wakati era nebakubaganya ebirowoozo ku ngeri yokukwataganamu okulwanyisa ezimu ku ndwadde enkambwe, kamalabyonna era akinogaanyizza nga ezimu ku ndwadde ezitawaanya abantu mu Uganda bwezeekuusa ku buligo.

Mu ngeri yeemu yalambula n’omulimu gwokuzzaawo enyumba Muzibuazaalampanga wegutuuse era azeemu nakaatiriza ensonga yokuba nga amasiro kati gwa essuubi nti gaakuggwa amangu ddala wadde.

Kamalabyonna ayanjulidde obuganda ensonga 4 Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka zeyalambika obuganda bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Mu zino mulimu kabaka okusiima akakiiko akateekateeka omukolo gwa matikkira ogwali enkumba nga baakulemberwamu owek Chrisopher Bwanika nga amyukibwa Owek David Kyewalabye Male ate ne Prof Twaha Kawaase Kigongo eyakola ku nteekateeka y’omugenyi wa Kabaka owenjawulo Sultan Saad Abubakar II okuva e Sokoto.

Kabaka era yasiima aba Buganda heritage association ettabi lye bugngereza olwokuteeka ekipande ku nnyumba Ssekabaka Muteesa mweyabeeranga era katikkiro wano alagidde ebifo byonna ebyobwakabaka ebirina ebyafaayo ebyenkizo okuteebwako obulambe okusobola okubiziyiza okuzaawa ate n’okufunamu ensimbi mu byobulambuzi.

Kabaka era yasiima ebika gyeyasiima okulambula olwenteekateeka zeebakola era nakubiriza negyatannaba kulambula okukola kwebyo ebisoomooza ebika byabwe.

Ensonga y’okulima nobwegassi Yeemu ku nsonga enkulu kabaka zeyalambika abantu be okutandikako omwaka guno

Bwabadde ateemateema ensonga eno katikkiro asabye abantu okulima kyokka nga bwebagattako okulunda basobole okufuna ekinene mu ntuuyo zaabwe, okulwanyisa obwavu ,okuweerera abaana ate nokwekulaakulanya.

Abakiise mu lukiiko luno bakubaganyizza ebirowoozo ku biragiro bya Ssemunywa .

Oluvannyuma olukiiko luyisizza ebiteeso 5 era nga bisomeddwa minisita avunaanyizibwa ku lukiiko ne kaabineti Owek Noah Kiyimba.

 

 

Tetukwetaaga : Gen. Kale Kayihura bamugaanye okulinnya mu Amerika

Gavumenti ya America nga eyita mu Treasury Department evuddeyo neteeka envumbo ku eyali omuduumizi wa Poliisi ya Uganda Gen. Edward Kale Kayihura nga emuvunaana obukenuzi wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero Gavumenti ya Amerika egamba nti Kayihura yenyigira butereevu mu kutulugunya abasibe e Nalufenya mu Jinja. Kigambibwa nti Kayihura nga omuduumizi wa Poliisi yalina abantu be beyakulira nga mu kitongole kya Poliisi ekya Flying Squad abenyigiranga mu kutulugunya abasibe e Nalufenya Special Investigations Center (NSIC).

Kigambibwa nti aba Flying Squad bakozesanga emiggo, wamu n’ebigala by’emmundu okutulugunya abasibe mu NSIC. Waliwo omusibe omu agamba nti yakubwa n’ebintu ebyenjawulo ekyamuleetera n’okuzirika. Abasibe bongera okulumiriza nti abamu bwebamalanga okutulugunyizibwa nga bawaabwe omuwendo gwa ssente bakirize nti ddala benyigira mu bikolobero ebibavunaanibwa.

Sigal Mandelker, Treasury Undersecretary for Terrorism and Financial Intelligence avuddeyo nategeeza nti kano kabeere akabonero akokulabula eri abakozesa obubi obuyinza bwabwe okwetoloola ensi yonna.

Kayihura wamu nabe nnyumba ye okuli mukyala we Angela Umurisa Gabuka, muwala we Tesi Uwibambe, ne Mutabani we Kale Rudahigwa eby’obuggagga byabwe ebiri mu USA biteereddwako envumbo, tebakirizibwa kukola busuubuzi bwonna ne kkampuni oba Gavumenti ya America.

Busoga Ejaguza: Kati Emyaka 5, Nga Kyabazinga Gabula Nadiope Alamula Busoga

Olunaku olwa leero obwa Kyabazinga bwa Busoga bujaguza amatikira ga Kyabazinga ag’omulundi ogw’okutaano n’omulanga eri abavubuka okunyikira okukola n’okwenyigira mu mirimu gy’obwa Kyabazinga.

Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope IV, asabye abantu be okunyikira mu mirimu egikulaakulanya ekitundu kyabwe n’okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa endwadde

Bannamateeka Abasiraamu Bakukkulumidde Engeri Gyebakwatibwamu

Bannamateeka abasiraamu nga begattira mu kibiina kyabwe ki Uganda Muslim Lawyers Association bavumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu nga basinzira ku basiraamu abaddamu okukwatibwa nga bayimbuddwa Kkooti

Munnamateeka Mubiru Ayogedde Byeyalabye Mu Kkomera

Munamateeka James Mubiru eyakwatibwa ku bigambibwa nti yali agezaako okulemesa ebitongole byeby’okwerinda okukwata abavubuka bano.

Wabula ono ayimbuddwa ku kakalu ka Poliisi, kyokka nga atuukidde mu ddwaliro