Amawulire – Buganda (Buganda Kingdom)

,

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga bwatyo nassa ebitongole ebikuumaddembe ku ninga okuketta abamenyi ba mateeka nga nemisango tejinaddizibwa.

Bino owomumbuga abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda olwa 27 olutuula olusooka olutudde leero ku mbuga enkulu e bulange e mengo.

Katikkiro ayogedde nekusonga ya safe houses kati ezitava mu mimwa gyabantu olwebigambibwa okuba nga abantu batugunyizibwaayo nalabula nti kino tekirina bwekiyamba ggwanga lino.

Gyebuvuddeko bannansi ba South Africa beesuulamu jjulume nebadda ku bantu abatali bannansi ba ggwanga lino nebabatirimbula nokwonoona ebyabwe, katikkiro avumiridde ekikolwa kino era nalabula bannauganda obutetantala kukikola kubanga abagwiira sikyekizibu kye ggwanga.

Ku nsonga y’okufa kweyali omukulembeze we ggwanga lya Zimbabwe Robert Mugabe katikkiro asabye abakulembeze nabantu ba bulijjo okukitwala nga ekyokuyiga baleme okuwaalirira nga ennyo ate n’obutanyigiriza balala.

Owomumbuga era alabudde abantu ku kabi akali mu kuvugisa ekimama ku nguudo nasaba abavunaanyizibwa ku bidduka okuvunaana abo bonna abamenya amateeka ku nguudo nga tebanasaanyawo bulamu bwa bantu.

Ezo zezimu ku nsonga enkulu kamalabyonna zayanjulidde abakiise bolukiiko lwa Buganda .

 

 

 

,

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde enkya ya leero nelukubaganya ebirowoozo ku biragiro Nyinimu Ssaabasajja Kabaka byeyabalagira okussa mu nkola bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Enkya ya leero abakiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu bakubaganyizza ebirowoozo ku nsonga kabaka zeyabalambika bweyali aggulawo omwaka gw’olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Olukiiko lulambikiddwa omukubirizibwa w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule era lutandise nakusaasira abo abafunye ebizibu ate n’okujagulizaako abo abaliko byebatuuseeko.

Kamalabyonna ayanjudde emikolo Kabaka gyasiimye okulabikirako okuva olukiiko lwelwasembayo okutuula.

Egimu ku mikolo kabaka gyasiimye okulabikirako kwekuli okulambula obutaka bwekika kye ffumbe ne nemba, kamalabyonna wano azeemu nakaatiriza ensonga yokuwandiisa ettaka lye mbuga ze bika mu bayima nti kino kyakuyamba okumalawo ekibba ttaka.

Ku nsonga eno katikkiro eraazzeemu nalabula abantu ku nsonga ze nkayana mu bika nti yye wakugendera ku nsalawo kabaka gyaba awadde nga bwenatambula.

Ensonga ye bbago lye teeka ku mwanyi nayo obwakabaka tebunajijjako ngalo era katikkiro ategeezezza obuganda nga bweyawandiikira gavumenti ebirowoozo byobwakabaka ku bbago lino era nga balindiridde ekinavaayo.

Egimu ku mirimu egibadde mu wofiisi ya katikkiro gyanokoddeyo kwekusisinkana ekitongole kyebyobulamu mu gavumenti ya wakati era nebakubaganya ebirowoozo ku ngeri yokukwataganamu okulwanyisa ezimu ku ndwadde enkambwe, kamalabyonna era akinogaanyizza nga ezimu ku ndwadde ezitawaanya abantu mu Uganda bwezeekuusa ku buligo.

Mu ngeri yeemu yalambula n’omulimu gwokuzzaawo enyumba Muzibuazaalampanga wegutuuse era azeemu nakaatiriza ensonga yokuba nga amasiro kati gwa essuubi nti gaakuggwa amangu ddala wadde.

Kamalabyonna ayanjulidde obuganda ensonga 4 Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka zeyalambika obuganda bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 27.

Mu zino mulimu kabaka okusiima akakiiko akateekateeka omukolo gwa matikkira ogwali enkumba nga baakulemberwamu owek Chrisopher Bwanika nga amyukibwa Owek David Kyewalabye Male ate ne Prof Twaha Kawaase Kigongo eyakola ku nteekateeka y’omugenyi wa Kabaka owenjawulo Sultan Saad Abubakar II okuva e Sokoto.

Kabaka era yasiima aba Buganda heritage association ettabi lye bugngereza olwokuteeka ekipande ku nnyumba Ssekabaka Muteesa mweyabeeranga era katikkiro wano alagidde ebifo byonna ebyobwakabaka ebirina ebyafaayo ebyenkizo okuteebwako obulambe okusobola okubiziyiza okuzaawa ate n’okufunamu ensimbi mu byobulambuzi.

Kabaka era yasiima ebika gyeyasiima okulambula olwenteekateeka zeebakola era nakubiriza negyatannaba kulambula okukola kwebyo ebisoomooza ebika byabwe.

Ensonga y’okulima nobwegassi Yeemu ku nsonga enkulu kabaka zeyalambika abantu be okutandikako omwaka guno

Bwabadde ateemateema ensonga eno katikkiro asabye abantu okulima kyokka nga bwebagattako okulunda basobole okufuna ekinene mu ntuuyo zaabwe, okulwanyisa obwavu ,okuweerera abaana ate nokwekulaakulanya.

Abakiise mu lukiiko luno bakubaganyizza ebirowoozo ku biragiro bya Ssemunywa .

Oluvannyuma olukiiko luyisizza ebiteeso 5 era nga bisomeddwa minisita avunaanyizibwa ku lukiiko ne kaabineti Owek Noah Kiyimba.

 

 

Ssaabasajja Kabaka agguddewo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 27

Ssaabasajja Kabaka agguddewo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 27.
Beene asabye abakulu b’ebika beteeketeeke bulungi asobole okulambula obutaka bwabwe n’okumanya embeera gyebulimu n’okulaba engeri obwakabaka gyebuyinza okulaakulanya obutaka olwabantu ba Buganda.

Era wano Beene akubirizza abazzukulu okukwatizaako bajjaja baabwe ku nsonga y’okuteekateeka obutaka bwabwe. Omutanda asiimye omubaka we mu bitundu bye Bungereza ne Ireland Ronald Lutaaya wamu n’aba Buganda heritage association abaakola enteekateeka y’ekipande ekitongole nekiteekebwa ku nnyumba Ssekabaka Muteesa gyeyasulangamu okuva mu 1968 okutuuka mu November 1969.

Omutanda asiimye Baminisitaa be abaawummula wamu n’abaggya n’abaagaliza obuweereza obulungi.

,

Okwogera kwa Kabaka my kuggulawo Olukiiko

OKWOGERA KWA KABAKA MU KUGGULAWO OLUKIIKO LWA BUGANDA OLWA 27 NGA 19TH AUGUST 2019

Tubaanirizza mwenna abazze ku mukolo ogwa leero, tuyozayoza speaker w’olukiiko luno omuggya owekitiibwa patrick mugumbule olw’okulondebwa era tumwagaliza okukola obulungi. Twebaza nnyo owekitiibwa nelson kawalya abadde speaker olw’okukubiriza obulungi olukiiko okumala emyaka mukaaga era tumwagaliza obulamu obulungi. Mu ngeri yeemu tuyozayoza baminisita abazzeemu okulondebwa era nebakwasibwa obuvunaanyizibwa obusinga kwobwo bwebabadde nabwo, era nabo tubaagaliza obuweereza obulungi.
Tuddamu nate okwebaza baminisita abaawummula emirimu gyebakolera obwakabaka okumala emyaka mukaaga, bannaffe beebale nnyo beebalire ddala.


Olwa leero nina ensonga nnya ez’okwogerako;
1. Twebaza nnyo abateesiteesi b’emikolo egy’amatikkira aomwaka guno, emikolo gyali mirungi nnyo era gyatusanyusa nnyo, mwebale nnyo mwebalire ddala.
2. Twebaza abakulu b’ebika eyo gyetwalambula obutaka, baatwaniriza bulungi era twayiga bingi ebikwata ku butaka obwo era tubeebaza nnyo. Ekigendererwa mu kulambula kuno, kwekumanya embeera obutaka gyebulimu era n’okulaba engeri obwakabaka gyebuyinza okuyamba mu kulaakulanya obutaka obw’abantu baffe. Obutaka gyetutannatuuka tusuubira okugendayo gyebujja awo mu maaso era kirungi bannaffe abo batandike okweteekateeka. Tukubiriza abazzukulu bakwatizeeko ku bajjajja baabwe ku nsonga eyo enkulu ey’okuteekateeka okulambula okwo.
3. Tuddamu okubagamba obukulu bw’obwegassi mu mirimu gyaffe, era n’okwongera okulima emmwanyi awamu n’ebirime ebirala eby’ettunzi.


4. Twebaza nnyo bannaffe aba buganda heritage association ekitongole ekiri e bungereza, abaakola enteekateeka ekipande ekitongole nekiteekebwa ku nnyumba ssekabaka muteesa ii weyasulanga okuva mu april 1968 okutuusa weyakisa omukono mu november 1969. Bannaffe abo baakola ekintu kikulu nnyo era kisaanidde abantu baffe abakyalako e bungereza nabo baweyo akaseera okukyalira ekifo ekyo balabe embeera ssekabaka gyeyayitamu. Ekirowoozo eky’okuteeka ekipande ekyo ekitongole ku nnyumba eyo kyaleetebwa omubaka wa kabaka e bungereza owek ronald lutaya, awamu n’omwami bosco nnyombi n’omukyala ann nannyonga, oluvannyuma beegattibwako abaami, ssempiira kasozi, micheal kiggundu, steven kafero, william nkata ne richard kigula, abo bonna nga bali mu kitongole kya buganda cultural heritage association e bungereza. Abayima b’ekibiina ekyo be bannaalinya elizabeth nakabiri ssengaaga, omwami edward lubega, n’omukyala nantimba ddamulira, ssaava yiga matovu ne nnaalinnya kagere, nabo baayamba nnyo okutambuza omulimu ogwo.
Mbasaba, era tubaagaliza okuteesa obulungi mu lukiiko olujja era olukiiko ndugguddewo.

,

Omumyuka Wa Katikkiro Owek Twaha Asisinkanye Aba Pewosa

Omumyuka Wa Katikkiro Owek Twaha Asisinkanye Aba Pewosa

Katikkiro wa Buganda asiimye bannakibiina kya Pewosa olwokubeera a abasaale mu kutuukiriza ensonga ssemasonga ettaano nti kino lyekkubo erinatuusa buganda ku ntikko gyerubiirira

, ,

Omwoleso Gwa Cbs Pewosa Minisita Haruna Kasolo Agguddewo Omwoleso Gwa Pewosa

Omwoleso Gwa Cbs Pewosa Minisita Haruna Kasolo Agguddewo Omwoleso Gwa Pewosa

Minisita avunaanyizibwa kubya Cirles n’obukolero obutono Hajji Haruna Kyeyune Kasolo, avumiridde enkola yekitongole ekivunanyizibwa kumutindo ki UNBS olwokusabanga abalina obukolero obutono enguzi olwo balyooke bakakase ebintu byaabwe