rnrnrnrnrn
You are here
Home > AMAWULIRE AGEESIGIKA

AMAZINA MU MBALU

Abantu be ggwanga lya Bagisu olunaku olwaleero batongozza emikolo gy’okusala embalu egy’omwaka guno ng’obumu ku bulombolombo obukolebwa mu Buwangwa bwabwe.\r\n\r\nMu bimu ku bikolebwa mu mukolo guno gemazina ag’enjawulo agazinibwa okusanyusa abantu.\r\n\r\nGano gazinibwa abawala n’abalenzi abanekanekanye mu byambalo byobuwangwa bwabwe.\r\n\r\nKatutunulire amazina gano n’egeri gyegazinibwamu n’ekigendererwa kyago.\r\n

OKUSALA EMBALU

Abantu okuva Ebule n’Ebweya olunaku olwaleero beyiye mu  kibangirizi kya Mitoma grounds e Mbale okujaguza nga bwegyiweze emyaka bibiri bukya Bagisu batandika enkola y’okusala embalu mu buwangwa bwabwe.\r\n\r\nAbantu abawerera ddala mukaaga beebasaliddwa Embalu wakati mu mizira n’enduulu okuva mu bantu abakunganye okuva mu bungi.\r\n\r\nRobert Nestrooy Kayongo abadde Mbale era katulabe

WOOFIISI Y’ABENGEYE

ABAJJWA mu kika ky’Engeye bakulembeddemu emikolo mwe bamenyedde kkufulu za ofiisi y’ekika ebadde yasibwa ab’oludda lw’omutaka Mayanja Ntaate ng’ono y’abadde yalya obukulu bw’ekika kino ensowole.\r\n\r\nOmusiige mu Lubiri Naabalamba naye yeenyigdde mu mikolo gino nga n’okukkakkana enenyeddwa era omutaka Omukulu w’ekika ky’eNgeye Hajji Minge Kibirige n’agiyingira mu Butongole.\r\n\r\n

ABA KCCA BASISINKANYE

Olusirika lw’abakozi ne bakansala b’ekitongole ki KCCA luguddwawo olwaleero e Ntebe kyokka lutandikide mu kusika muguwa wakati wa Loodi Meeya Erias Lukwago n’abategesi. Kyokka era mu lukiiko lwerumu, Lukwago ne meeya wa Kampala Beti Kamya balidde matereke\r\n

OKULWANYISA OBUBENJE

Mu kawefube w’okulaba ng’obubenje bukendeera mu ggwanga, aba Uganda Red Cross bakkiridde mu masomero.\r\n\r\nBano, bakakasa nti enkola eno yakuyambako nnyo singa omwana ayogerako ne mukadde we ku nkozesa y’oluguudo.\r\n\r\n<iframe width="500" height="350" src="https://www.youtube.com/embed/k7tLWg8bTGs" frameborder="0" allowfullscreen></iframe>

Top