rnrnrnrnrn
You are here
Home > AMAWULIRE AGEESIGIKA > Besigye Agaliddwa

Besigye Agaliddwa

\r\r\r\r

Kkooti ye Moroto esindise Rt. Col. Dr. Kizza Besigye mu kkomera oluvannyuma lw’okumusomera omusango  gw’okulya mu nsi ye olukwe .\r\n\r\nBesigye wakudda mu kooti ng’ennaku zomwezi abiri mu ttaano  omwezi guno  okumusalira.\r\n\r\nBesigye atuusiddwa mu kkooti e Moroto ku ssaawa 12 ezaakawungeezi mu maaso g’omulamuzi Charles Yeteise n’ amusomera  omusango guno.\r\n\r\nAmyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye ategeezezza nti ono azze akuma omuliro mu bantu ng’abakunga okussa mu nkolaeky’okujeemera ebikolwa bya gavumenti ekikontana n’amateeka.\r\n\r\nBesigye tabadde na looya wadde omuntu omweyimirira era ng’aziddwayo mu kkomera.\r\n\r\nAkwanaganya essiga eddamuzi n’omuntu wabulijjo, Solomon Muyita  akakasizza ensonga eno, wabula n’ategeeza nti Dr Kizza Besigye wakuddizibwa mu kkooti nga 25 omwezi guno.\r\n\r\nDr. Besigye azze akwatibwa emirundi mingi ng’awakanya ebikolwa bya gavumenti ya president Museveni gy’agamba nti yava dda ku mulamwa.\r\n\r\nBesigye yakwatibwa ku lunaku olwakusatu wiiki eno bweyasala olukujjukujju n’atoloka ku ba poliisi abaali bakuuma ewuwe.\r\n\r\nKigambibwa nti n’abaserikale ababadde bakuuma ewuwe bakwatiddwa banonyerezebweko wadde nga kino amyuka omwogezi wa poliisi polly Namaye kino akisambazze.\r\n\r\nBya Peter Muweesi \r\n\r\nBBS TEREFAYINA\r\nAGEESIGIKA\r\n\r\n 

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top