rnrnrnrnrn
You are here
Home > AMAWULIRE AGEESIGIKA > Bannayuganda bajjanjabiddwa ku lutikko e Namirembe.

Bannayuganda bajjanjabiddwa ku lutikko e Namirembe.

\r\r\r\r

Bannayuganda ab’enjawulo bajjanjabiddwa endwadde ezitali zimu mu nkambi y’ebyobulamu ekubiddwa ku lutikko e Namirembe.\r\nEnkambi eno ebadde ku lutikko e Namirembe esombodde bannaddiini ab’enjawulo , bannabyabufuzi , n’abantu ba bulijjo.\r\nBishop Samuel Muwonge nga y’akuliddemu okutegeka enkambi eno ategeezezza nti ekigendereddwa mu kino kulaba nti abantu ba katonda mu ggwanga baba balamu nga y’ensonga lwaki baataddewo ne pulogulaamu y’okukebera n’okujjanjaba abantu.\r\nAsabye abantu okujjumbira ekkaniisa nti kubanga y’ensibuko y’obulamu n’eddembe.\r\nYe musawo zam Nakawooya ategeezezza nga bwebakebedde abantu siriimu ,kkookolo,puleesa n’okukomola abasajja.\r\nAbasumba okubadde Kityo Luwalira, ne Victor Okuva e Nigeria kko n’abalala basabidde eggwanga n’abantu okutwaliza awamu nebabakubiriza okwewala ebikola ebikyaamu mu maaso ga katonda.\r\nBya Faridah Nakayiza\r\nBBS TEREFAYINA\r\nAGEESIGIKA

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top