rnrnrnrnrn
You are here
Home > Author: Pat Robert Larubi

ABABAKA BA NRM BAKUBAGANYE EMPAWA: Abawakanya Okuggya Ekkomo Ku Myaka Gya Pulezidenti Beekandazze

Abamu ku babaka b’akabondo ka NRM beekandazze nebafuluma ekifo mwebabadde batuuzizza olukiiko okuteesa ku butya bwebagenda okuleeta ekiteeso eky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti mu palamenti olunaku olw’enkya. Kitegeerekese nti waliwo ababaka ba NRM babiri abatalina ludda ku nsonga eno, omusanvu tebawagira kuggya kkomo ku myaka gya pulezidenti kyokka ng’ababaka ba

Ababaka B’oludda Oluvuganya Bawera Enkya Baakulemesa Aba Nrm Okuleeta Ekiteeso

Ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti bategeezessa nga bwebagenda okukola buli ekisoboka okulemesa bannabwe aba NRM okuleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti olunaku olw’enkya. Wabula yye munnabwe Luttamaguzi Ssemakula agamba banne abaasazeewo okugenda emitala w’amayanja mu kiseera kino baliko akabuuza.

Kakensa Ssempebwa Alabudde Ku Kuggya Ekkomo Ku Myaka Gya Pulezidenti

Nga Bannayuganda bakyagenda mumaaso n’okuwa endowooza zabwe ku bbago eriggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga erisuubirwa okuleetebwa mu palamenti, omukugu mu kubaga  ssemateeka, Kakensa Frederick Ssempebwa atubuulidde ddi ssemateeka lweyandikoleddwako ennongoosereza. Nze kennyini nawayizzaamu n’omukulu ono era bino byeyangaambye

Okuggya Ekkomo Ku Myaka Gya Pulezidenti Bakansala Ba KCCA Ekisinde Ekyabwe Bakituumye ‘Togibikkula’

Abakulembeze ku ludda olw'ebyobufuzi mu Kampala baweze obutatuula butuuzi olunaku olwenkya ng’ababaka ba NRM batigiinya Ssemateeka okuggyamu obuwayiro obukugira mukama wabwe pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2021. Bano nga bewera Nate tukukubidde tooki mu ngeri Ssemateka wa Uganda gyazze akwatibwamu abakulembezze okuva Uganda lweyafuna obwetwaze mu 1962.

SHEIKH ISA KATENDE ATABUSE: Abaagala Okutigiinya Ssemateeka Beebamunyiizizza

Abakulembeze b’eddiini basabidwa okwongera okulwanyisa abantu abaagala okujjawo ekkomo ku myaka gy’omukul;embeze w’eggwanga. Sheikh Issa Katende ategeezezza nti ekya banaddiini okusaba wabeewo akalulu k’ekukungo tekimala. Sheikh Katende akkiriza nti bannaddiini y’entabiro y’amazima  nga kyekiseera  bawakanye  ekikolwa kino mulujjudde.

Supreme Mufti Alabudde Gavumenti Okuggya Ekkomo Ku Myaka Gya Pulezidenti Kyabulabe

Supreme Muft Sheikh Kasule Ndirangwa awabudde palamenti nga tennajjawo kkomo ku myaka gya Pulezidenti, nti Ababaka bosooke badde mu bantu abaabalonda babeebuzeeko naddala nga ku tteeka erikwata kubantu. Ndirangwa era alangiridde okusaba okwenjawulo mu mizikiti gyonna mu ggwanga Abayisiraamu bawanjagire omutonzi akomye ekitta bantu mu ggwanga lye Bbama ne kuno ekirabika

Top