Entries by bbstvuganda

Bannamateeka B’abavunaabibwa Okutta Kaweesi Bazzeeyo Mu Kkooti

Puliida w’Abasajja abavunaanibwa okubaako ne kyemanyi ku kufa kw’eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga omugenzi Andrew Felix Kaweesi, Anthony Wameri addukidde mu kkooti ng’ayagala bayambibwe baweebwe abantu baabwe abaakwatibwa gye buvuddeko. Kinajjukirwa nti ku lwokusatu lwa wiiki ewedde, abavubuka bano kkooti yabakkiriza okweyimirirwa kyokka nebaddamu nebakwatibwa abasajja, ekitongole ky’amagye bekikagamba nti kibamanyi.  

,

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ettemu nekiwamba bantu ekisusse mu ggwanga bwatyo nassa ebitongole ebikuumaddembe ku ninga okuketta abamenyi ba mateeka nga nemisango tejinaddizibwa. Bino owomumbuga abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda olwa 27 olutuula olusooka olutudde leero ku mbuga enkulu e bulange e mengo. Katikkiro ayogedde nekusonga ya safe houses kati ezitava mu […]

,

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde

Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 27 olutuula olusooka lutudde enkya ya leero nelukubaganya ebirowoozo ku biragiro Nyinimu Ssaabasajja Kabaka byeyabalagira okussa mu nkola bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 27. Enkya ya leero abakiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu bakubaganyizza ebirowoozo ku nsonga kabaka zeyabalambika bweyali aggulawo omwaka gw’olukiiko lwa Buganda olwa 27. Olukiiko lulambikiddwa […]

Tetukwetaaga : Gen. Kale Kayihura bamugaanye okulinnya mu Amerika

Gavumenti ya America nga eyita mu Treasury Department evuddeyo neteeka envumbo ku eyali omuduumizi wa Poliisi ya Uganda Gen. Edward Kale Kayihura nga emuvunaana obukenuzi wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero Gavumenti ya Amerika egamba nti Kayihura yenyigira butereevu mu kutulugunya abasibe e Nalufenya mu Jinja. Kigambibwa nti Kayihura nga omuduumizi wa Poliisi […]

Busoga Ejaguza: Kati Emyaka 5, Nga Kyabazinga Gabula Nadiope Alamula Busoga

Olunaku olwa leero obwa Kyabazinga bwa Busoga bujaguza amatikira ga Kyabazinga ag’omulundi ogw’okutaano n’omulanga eri abavubuka okunyikira okukola n’okwenyigira mu mirimu gy’obwa Kyabazinga. Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope IV, asabye abantu be okunyikira mu mirimu egikulaakulanya ekitundu kyabwe n’okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa endwadde