rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > ASiika Obulamu – Ensonga

ASiika Obulamu – Ensonga

\r\r\r\r

Kyabutonde abaana omukyala yenna okuva ku myaka 10 – 50,  okugenda mu nsonga…wabula emirundi egisinga bangi basanga okusoomozebwa olwobutafuna kulungamizibwa ku ngeri gyebalina okweyisamu naddala nga batuuse mu kiseera kino.

Abakugu bagamba nti ekisokera ddala ng’omukyala atuuse mu nsonga alina okubeera omuyonjo ng’atandikira ku bisabika byakozesa ngasinzira ku bungi ne naku zamala ngali mu kiseera kino.

Okusinziira ku Dr. Mutana, omukyala alina okunaaba emirundi egitasuka ena buli lunaku songa byo ebisabika birina okukyusibwa buli luvanyuma lwa ssawa mukaaga era ng’omuntu alina okukozesa ebyo ebikwatagana n’omubiri gwe, kubanga ebimu byabulabe.

Olw’okwagala okukuuma obuyonjo, abantu abamu banaabisa Ssabbuuni kyokka nga abakugu bagamba nti ate ono ayinza okuleeta obulabe…songa nabakozesa ebiwero byebatasuula, biba bilina okwozebwa obulungi, nebyanikibwa era nebigololwa  ate nga birina okuba nga byakolwa mu Ppamba.

Omukugu era alabula abakyala abegattira mu nsonga okukikomya kubanga kya bulabe kubanga kiyinza okulwaza Nnabaana.

Abalumwa enyo nga bali mu nsonga baweebwa amagezi okuyisa ekiwero ekibuguma mundira, nga kino kiyambako okusanuusa omusaayi oguba gwekutte negufuluma bulungi  kyokka ngomuntu singa aba asussizza ennaku musanvu ngali munsonga abeera alina okulaba omusawo.

Ebimu ku bisinga okugdya abaana abawala mu masomero mu ggwanga byebizibu ebyetololera ku nsonga z’abakyala omuli okulumwa, ebbula lyebisabika nebirala kyokka ngasinga baba balungamiziddwa basobolera ddala okumalako

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top