rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Abantu Abasoba Mu 300 Bafunye Obujjanjabi Mu Lusiisira Lw’ebyobulamu

Abantu Abasoba Mu 300 Bafunye Obujjanjabi Mu Lusiisira Lw’ebyobulamu

\r\r\r\r

Abantu abasoba mu 300 bafunye obujjanjabi mu lusiisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa omukubiriza w’olukiiko lw’abavubuka mu bwakabaka bwa Buganda Allan Ssebunya Mayanja

Ku mukolo gwegumu kutegekedwaako n’omupiira era nga ebyalo ebyenjawulo bivuganyizza

Abantu bekuluumudde okuva ku byalo ebyenjawulo ebyetooloodde e ggombolola y’e Kito esangibwa e Nakaseke okufuna obujjanjabi ku bwereere

Mu bujjanjabi obubaweereddwa mubaddemu okukebera amannyo ,akawuka akaleeta obulwadde bwa mukenenya era abantu abawerako bajjanjabiddwa

Twogeddeko n’abantu abafunye obujjanjabi buno nebatutegeeza nti bakoledwaako bulungi era n’abasiima olwenteekateeka eno

Hajji Issa Senyonga ng’ono y’abadde omugenyi omukulu olutuuse mu kifo ekitegekedwaamu olusiisira luno asimbye omuti ogwekijjukizo oluvanyuma n’alambula ebifo awabadde wajjanjabilwa abantu

Ku mukolo gwegumu kutegekedwaako omupiira ogwebigere ogutuumiddwa Sebunya cup era ebyaalo ebyenjawulo bivuganyizza

Gyebigweeredde nga tiimu ya Kivumu B ekubye ginaayo eya kivumu A era esitukidde mukikopo ngakwotadde nembuzi saako nebilabo ebilala

Allan Sebunya ngono y’ategese omukolo guno yebazizza banakito okujjumbira era nabasaba okwetaniranga enteekateeka zabuganda

Hajji Issa Senyonga ono nga w’akakiiko kabuganda twezimbe eranga yabadde omugenyi omukulu yeyamye okuyamba kubaana abobuwala okulabanga bafuna ekyokukola

 

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top