rnrnrnrnrn
You are here
Home > GAMBUUZE / AGEESIGIKA > Abalamazi Bakulunguka Okugenda Ewafiira Omujulizi Yowana Maria, Y’ani Ono?

Abalamazi Bakulunguka Okugenda Ewafiira Omujulizi Yowana Maria, Y’ani Ono?

\r\r\r\r

Nga January 27, 1887, Yoana Maria Muzeeyi Musoke Muddembuga eyamanyika ennyo nga Jean Marie Muzeeyi yattibwa…era ono ye mujulizi omukatoliki eyasembayo okuttibwa…mu kiwendo eky’okutta Abasomi ku Myanga…era nga bamuttira mu Kisenyi.

Ekiggwa kya Muzeeyi kisangibwa mu Kisenyi  – Jugula…era wano abakiriza okuva ebule n’ebweya tebaggwawo.Wano abakiriza webalamaga okusaba Katonda abakolere ku byetaago byabwe nga beekutte ku mujulizi ono.

Abantu bano basinga kuva Tanzania, kubanga ono bamutwala ng’omujulizi wabwe anti yazaalibwa Minziiro.

Deogratius Ssegaluma y’omukubalabirira ekifo kino, atubulidde obuzaale bw’omujulizi Yoana Marie Muzeeyi.

Muzeeyi omulimu gweyakolanga mu lubiri gwali gwa busawo era nga yeyali omujanjaabi omukulu owa Ssekabaka Muteesa I, era bwayasoma eddinni yasalawo okubeera munnaddini okutuusa lweyatibwa.

Muzeeyi yasooka kusiramuka era nga yali ayitibwa Jamari, wabula bweyasalawo okufuuka omukatuliki oluvanyuma lwa Mapeera okusomesa eddiini y’ekikatulikiti era namutuuma Jean Marie, erifaanagana ne Jamari.

Ekiwendo ekyasooka eky’okuyiiga abasomi, Muzeeyi kyamuboola…anti teyaliiwo era bweyadda yasooka kugenda kwebuuza ku bakulu abali bamusomesa eddini era bweyadda mu lubiri nakwatiibwa yogayoga mu ttambiro.

Ekiggwa kye kiriko ebyafaayo bingi, era nga kuliko oluzzi abalamazi mwebasena amazzi gebagamba nti gamukisa era nga bagakozesa ebintu ebiwerako.

Wano wenyi wewali omuti ogwali mu kifo awasibuka ensulo z’oluzzi nga mu kiseera kino gwatemwaawo wabula enkonge y’omuti guno abakiriza bagenda batemako ebibajjo nebabitwaala okwongera okufuna ebyamagero.

Wetutukidde ku kiggwa kino nga abalamzi okuva e Tanzania batuuse era nga byebogera ku mujulizi ono bingi.

Buli mwaka okulamaga kuno kweyongera amaanyi olw’abalamazi abagenda bakwegattako…awatali kusosola mu myaka.

 

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top