rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2018 > December

Bubuno obulungi obuli mu kubatiza

Okuzannya ku nokodwayo ng’akamu ku butiba obusobola okubumbira omwaana ebiseera bye eby’omumaaso kubanga kizuuliddwa nti abaana baagala nnyo okuzanya kweebyo byebegwaanyiza okubeera. Wano viika w’e Namirembe Rev. Festo wasinzidde n’asaba abazadde obutakugira baana kuzanya era bino abyoogeredde mukusaba okw’obukatiza okubadde mu kanisa y’omutukuvu Paul. https://youtu.be/GaWvVAd8uj8

Omubaka wa Makidye aganiddwa okusalimbira e busabala

Omubaka w’ekitundu kino Kigozi Ssempala Sajjalyabeene, naye agaaniddwa okugenda e Busaabala ewabadde wagenda okubeera ekivvulu kya Mubaka munne. Kyokka ono avumiridde enkola ya Poliisi nti kino kiraga nga gavumenti bweyisa olugaayu mu Palamenti n’obutawa kitiibwa bagivuganya. Okwogera bino, Tumusanze mu makage nga yewuunya eggwanga lye gyeriraga.https://youtu.be/DKnvVapvE8A

Enkuuka Jubileewo

Enkuuka ya CBS etongozeddwa, ebirabo ttomooni byebigenda okuwangulwa Entikko y’okujjaguza ebikujjuko bya Jubireewo eyengedde era abantu ba Ssaabasajja Kabaka yonna gyebali basabiddwa okujja mu bunji nga 31 omweezi guno mu lubiri lwa ssaabasajja olw’e Mengo okubuguriza empologoma ng’eggalawo omwaaka 2018 n’okuggulawo omwaka 2019. Okusinziira ku bategesi b’ekujjuko bino bitegekeddwa mumbeera enajjayo ekifaananyi

Okulwanyisa Obukenuzi

Abakulira ekitongole ky’ettaka e Wakiso gabamyuse, akakiiko ka Pulezidenti akalwanyisa obukenuzi kabakutte. Abantu abakunuukiriza mu 10, bagombeddwamu obwala, oluvanyuma lw’ekitongole kya Pulezidenti ekirwanyisa obukenuzi, okuzinda ekitebe ky’ettaka e Wakiso. Bano babadde bakulembeddwamu Lt. Col. Edith Nakalema, ono nga yakulira ekitongole ekirwanyisa obukenuzi kino nga kisinziira mu maka g’obwapulezidenti

Omwana abadde azze ewa Taata we omuto okulya Ssekukkulu bamusaddaase

Omwana abadde azze ewa Taata we omuto okulya Ssekukkulu bamusaddaase Omwana ow’emyaaka 13 asaliddwako omutwe abatemu abatannategeerekeka nebakuulita nagwo. Jane Naggayi ng’abadde azze wa Kitaawe Omuto okulya olunaku Ssekukkulu y’attiddwa mu bukambwe, ekikolwa kino kirese abatuuze nga bali munnaku ey’ekitalo. Bino bibadde ku kyalo Bukasa Kirinnya mu disitulikiti y’e Wakiso

Top