rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2017 > May (Page 2)

Abakkiriza Bakyagenda Mu Maaso N’okweyiwa Ku Kiggwa Ky’abajulizi E Namugongo

Abakkiriza bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo okujjukira abajulizi abafiiririra eddiini yaabwe Abantu abatali bamu bakyagenda mu maaso n’okutuuka ku biggwa by’abajulizi e Namugongo. Abasinga batuukira mu bisiikirize ebweru okuwummulako anti embeera tennatabuka olw’abalamazi abatono mu kadde kano Twogeddeko n’abamu ku baakatuuka, Abalala balaze essanyu olwokutuuka nga balamu newankubadde

Gen. Edward Katumba Wamala Ayagala Omusolo Ku Mwenge N’ebiragalalagala Gwongezebwe

Eyaliko omuduumizi w’eggye ly’eggwanga ow’okuntikko  nga kati ye minisita omubeezi ow’ebyenguudo   Gen.Edward Katumba Wamala  ayagala omusolo ku mwenge n’ebiragalalagala gwongezebwe. Ono agamba nti ebintu bino okubeera ku bbeeyi ya wansi kyekivuddeko abavubuka okubyettanira Minisita omubeezi ow’ebyenguudo  Gen. Katumba Wamala asisinkanye abaali bawaddanga kyokka nebava ku mwenge wali ku Silver Spring Hotel 

Ab’omuzannyo Gwa Ludo Balonze Abakulembeze Baabwe

Abakulembeze b’omuzannyo gwa LUDO 200 bebatudde mu kibuga kampala okuva mu bitundu by’eggwanga byonna okulonda omukulembeze waabwe okumala emyaka 4. Okulonda kuno kwagenze okukomekkerezebwa nga  HUSSEIN KALULE addiziddwa mu kifo kino nga tavuganyiziddwa  oluvanyuma lw’okwolesa obukulembeze obulunji mu muzannyo guno. Hussein oluvanyuma yategeezezza nga bw’agenda okutandika nabyo oluvanyuma lw’okulya entebe Kalule agamba nti

Ab’enzikiriza Y’obukatoliki Mu Nsi Yonna Bakuzizza Olunaku Lw’abannamawulire

Enzikiriza y’obukatoliki  mu nsi yonna  yasalawo okuvaangayo okukuza olunaku lw’abannamawulire buli mwaka,nga wano mu Uganda olunaku luno lukuziddwa kukiggo kya St. Andrew Kaggwa e Kigoowa. Olunaku luno luzze nga waakayita emyezi ebiri ng’eyali omwogezi wa poliisi Felix Kaweesi Yaakattibwa nga y’ensonga lwaki okusaba kutegekeddwa mu Akeleziya mweyasabiranga Omutambizi omukulu abadde  Musinya Lawrence

National Medical Stores Eremereddwa Okugaba Eddagala – Ababaka Batabuse

Gyebuvuddeko atwala etterekero ly’eddagala mu ggwanga li National Medical stores ssenkulu w'ekitongole ky'etterekero ly'eddagala mu ggwanga ki National Medical Stores, Moses Kamabare yalabikako eri akakiiko ka palamenti ak'ebyobulamu n’ategeeza ababaka nti omwaka gw'ebyensimbi guno nga tegunaba kugwaako tebajja kusobola  kutuusa ku Bannayuganda eddagala naddala mu malwaliro agasookerwako. Kino kivudde ku bbanja

British Airways: Enkumi N’enkumi Z’abasaabaze Bakonkomalidde Ku Kisaawe

Enkumi n’enkumi z’abasaabaze bakonkomalidde ku kisaawe ky’ennyonyi mu heathrow ekya  London mu ggwanga erya Bungereza. Kino kiddiridde kampuni y’ennyonyi ensaabazi y’ebantu eya British Airways okutataaganyizibwa mu tekinologiya atambuza ennyonyi zaayo. Entambula z’ennyonyi zonna zisazidwaamu mu kiseera kino abasaabaze basabiddwa okusigala nga bakakkamu nga n’abo abasobodde okutambula olunaku lw’eggulo tebaasobodde kutambula namigugu gyaabwe… Kino

Ebitundu N’abantu Tutunuulidde Ekyalo Ky’e Namugongo Mu Kiira Town Council Lw’Abajulizi Abafiirayo

Banabyafaayo ab'enjawulo bawanuuza nti mu mwaka 1760 obwa Kabaka obwaliwo mu kiseera ekyo bwatandikawo ekifo eky'okubonererezamu abawereza bonna abagyemu era nga abantu abaliyo mu nkumi nenkumi bebalugulamu obulamu okutukira ddala mu 1886 n'abajulizi bwerwabazingiramu. Kigambibwa nti omusaayi gwa bano ogwayika mu kifo kino gwegwakomya okutibwa kw'abantu mu kifo kino era bonna

Olusoma Olw’okubiri Olugenda Okutandika Enkya

Ng’abayizi  betegekera  olusoma  olw’okubiri  olugenda  okutandika   enkya,  olwaleero  abazadde  n’abasomesa  basiibye mu keetalo  ka kuzzaayo bayizi  wamu  n’okubafunira   ebyetaago, newankubadde  ng’abasinga bakyasobeddwa anti ssente zifuuse akasente Olunaku lwenkya  abayizi  bonna  lwebagenda   okutandika  olusoma  olwattamu ey’okubiri  mu butongole. Olwaleero abazadde basiibye mu keetalo naddala abalina abasomera mu bisulo kyokka bano bakkukkulumye olw’ebbeeyi y’ebintu

Omwoleso Ga Galaxy International, Minisita Asimye

Minisita avunanyizibwa ku songa z’omukago gwa East Africa, Dr. Ali Kirunda Kivejinja agamba nti engeri abayizi banno bw’ebatandise okuyiiya nga bakyali bato….kijja kubasobozesa okukyusa ensi nga beyambisa tekinologiya. Omu ku bakugu abetabye ku mwoleso guno Scott Chandler agamba nti kino bakikola okusobozesa abayizi okujja by’ebasoma mu kibiina n’ebabizza mu buliwo kibasobozese

ABALAMAZI OKUVA E KENYA BAKUBYE KKOODI

Kino kye kibinja ky’Abalamazi abavudde e Kenya nga batandika okutambula ku lunaku lw’okusatu era tubasanze Kenya kumpi Mayiro 10, n’ensalo ya Uganda nga batambula okujja okuyingira Uganda. Oluvanyuma batuuse ku nsalo ya Uganda ne Kenya e Busia, era basobodde okulagayo endagamuntu zaabwe nebayingira eggwanga awatali kukaluubirizibwa kwonna. Kyokka eby’okwerinda bibadde gulugulu okulabira

Top