rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2017 > May

Okulonda Kw’e Kyaddondo East: 6 Beebeewandiisizza Okuvuganya

Emirimu mu kibuga Kasangati n’emirirano emirimu nga banabyafuzi bataano bewandisa okuddamu okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kyadondo East. Kabadde kayisannyo nga abawagizi okuva mu nsonda ezenjawulo bawerekeddeko abantu babwe ku kitebe ky’e Ssaza Kyadondo Kasangati okusunsulwa. Buli kika kya kidduka kibaddewo anti ne lukululana ezetika sseminti zireteddwa era nga bwobera okyakungiriza aba

Abalamazi Bakulunguka Okugenda Ewafiira Omujulizi Yowana Maria, Y’ani Ono?

Nga January 27, 1887, Yoana Maria Muzeeyi Musoke Muddembuga eyamanyika ennyo nga Jean Marie Muzeeyi yattibwa…era ono ye mujulizi omukatoliki eyasembayo okuttibwa…mu kiwendo eky’okutta Abasomi ku Myanga…era nga bamuttira mu Kisenyi. Ekiggwa kya Muzeeyi kisangibwa mu Kisenyi  - Jugula…era wano abakiriza okuva ebule n’ebweya tebaggwawo.Wano abakiriza webalamaga okusaba Katonda abakolere ku

Ebidduka Mu Kulamaga: Poliisi Erambuludde Enteekateeka Enaagobererwa

Embeera ku biggwa bya bajulizi e Namugongo yeyongeddemu amaanyi ng’abalamazi bongedde okutuuka okuva mu bitundu ebyenjawulo ngabasinga batambuza bigere okutuuka mu kifo kino. Mu kiseera kino emmotoka mu bitundu ebimu zitandiise okusimba olwa kasota era nga zigenda kasoobo awamu….olw’abalamazi okuba nga nabo bakozesa ekkubo lye limu. Omuduumizi wa Poliisi y’ebidduka mu Kampala

Okusabira Prof. Mukiibi: Atenderezeddwa Okutumbula Ebyenjigiriza

 Omubiri gw’omugenzi Prof. Lawrence Mukiibi olwaleero guggyiddwa mu ddwaliro e Mulago gyegubadde gukuumirwa bukyanga afa ne gusabirwa mu lutikko e Rubaga abangi gye bamwogereddeko ebirungi ebyereere. Bweguggyiddwa e Lubaga gutwaliddwa ku ssettendekero wa St. Lawrence wano mu Ndeeba abayizi gye bagukubiddeko eriiso evvannyuma ne bagwolekeza mu makaage e Kitemu.

Empaka Z’amasaza: Abawulira Emisango Batandise Okukola

 Akakiiko akasookerwako akawulira emisango gy’emipiira gy’Amasaza katandise olwaleero okukola omulimu ogwakakwasiddwa. Nga ebula omupiira gumu  emipiira egisoka mu kibiija egy’Amasaza okukomekelezebwa  ttiimu zogedde okuloopa zinaazo emisango egy’enjawulo. Mu ziroobye, mwemuli essaza BUDDU ne Bulemeezi nga bano baalopa essaza MAWOKOTA olw’okulemesa abazannyi babwe okubazannyira Abalala abalopye Busiro yaloopa Kyaddondo olw’okuzanyisa omuzanyi atali atali mutuufu

Omulambo Gw’omugagga Ivan Ssemwanga Gutuuse Mu Uganda

Emiranga nokwaziraana bibuutikidde ekisaawe Entebe ng’omulambo gw’omugagga Ivan Ssemwanga gutuuse Ono Yafiira mu ggwanga li SouthAfricca ssaabbiiti ewedde. Wetutuukidde ku kisaawe ng’aba famire ya Ivan Ssemwanga, emikwano okubadde NJAKO, SK.Mbuga n’abalala bangi balindiridde omulambo. Essaawa zibadde 2:30 enyonyi omubadde omulambo gwa Ssemwanga n’etonnya ku kisaawe era ekiddirided Miranga SK Mbuga mu kwogera naffe ategeezezza

PROF. Lawrence Mukiibi Omutandisi W’amasomero Ga St. Lawrence Afudde

PROF. Lawrence Mukiibi omutandisi w’amasomero ga St. Lawrence afudde enkya ya leero oluvannyuma lw’okumala ennaku ng’ajjanjabibwa ku ddwaliro li Norvik wano mu Kampala. Mu kiseera kino ab’enganda ze n’emikwano bali mu nteekateeka ez’okuziika wali mu maka ge e Kitemu Okusinziira ku muyambi  wa Prof. Mukiibi ,  Muky. Nannyanzi Prof.  abadde atawaanyizibwa obulwadde

Abantu Abasoba Mu 300 Bafunye Obujjanjabi Mu Lusiisira Lw’ebyobulamu

Abantu abasoba mu 300 bafunye obujjanjabi mu lusiisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa omukubiriza w’olukiiko lw’abavubuka mu bwakabaka bwa Buganda Allan Ssebunya Mayanja Ku mukolo gwegumu kutegekedwaako n’omupiira era nga ebyalo ebyenjawulo bivuganyizza Abantu bekuluumudde okuva ku byalo ebyenjawulo ebyetooloodde e ggombolola y’e Kito esangibwa e Nakaseke okufuna obujjanjabi ku bwereere Mu bujjanjabi obubaweereddwa mubaddemu okukebera

Top