rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2017 > March

ABA DP BANUYIRIDDE, NSAMBYA ATABUSE

Olukungaana lwa DP mu Buganda olwaleero lugweredde mu kwesikangana ne Poliiisi ng’omwogezi omwangu ayinza okugamba nti balukubye mu luguudo. Bano basimbudde wano ku e Mmengo okwolekera Nsambya. Poliisi enkoko egikute mu mwa nezingako Nsambya Sharing Hall okuziyiza olukiiko lwa Betty Nambooze ne bana DP abenjawulo. Engoye ziyuziddwa abalala nebayoolebwa wakati mu

ABASOMESA E MAKERERE

Omwaka oguwedde abasomesa mu ssetendekero we makerere baawummuza ebikola wansi lwa nsonga ya butabasasula musaala . Ensonga eno erabika ng’ezzeemu anti abakulembera obukiiko mu matendekero agatali gamu aga gavumenti olwaleero bakungaanye n’omulanga nti bongezebwe omusaala nga bwekyasuubizibwa https://www.facebook.com/bbstvUG/videos/1428895110504148/

UGANDA EWANGUDDE

Munnayuganda Jacob Kiplimo awangudde omudaali gwa zaabu mu misinde gya abali wansi w’emyaka 20 mu gy’okutolontoka ebyalo gi World Cross Country Championships. Ye munnayuganda asoose okuwangulira Uganda omudaali mu misinde gino Kenya yeerisizza nkuuli mu misinde gino Uganda's latest news, BBS Terefayina , Uganda live, TV in Uganda, Buganda TV, Online

OKUYIGGA AKALULU E KAMULI

Okuddamu okulonda omubaka wa palamenti mu munisipaali ye Kamuli kutandikidde mu ggiya ng’abeesimbyewo bonna basuubizizza okuleeta enkulakulana mu kitundu. Kinajjukirwa nti okuddamu okulonda, kiddiridde kkooti okujjayo omubaka eyali mu kifo kino owa NRM Hajati Rehema Watongola ya olw’obuyigirize obwali obwekibogwe. Uganda's latest news, BBS Terefayina ,

ENTALO MU DP, RONALD MAYINJA KU DP.

ENTALO MU DP Omuyaga mu kibiina ki DP gwandyongera okukyabuluzaamu singa abakulu balemerwa okukkaanya ku nkwata y’ekibiina n’okutuuza olukiiko lwa DP mu Buganda. Bannakibiina ab’enjawulo bongedde okusimbira obukulembeze obuliwo ekkuuli naddala ku ky’okutuuza olukiiko lwa DP mu Buganda. MAYINJA KU DP Omuyimbi Ronald Mayinja yeesowoddeyo mu butongole n’alangirira bwayingidde eby’obufuzi mu butongole ng’ayita

Okusabira Owek. Mayanja Nkangi

Nnamungi w'omuntu eyeyiye mu lutikko e Namirembe okusabira Owek. Mayanja Nkangi #BBSMumawulire : Nnamungi w'omuntu eyeyiye mu lutikko e Namirembe okusabira Owek. Mayanja Nkangi https://t.co/nJH23X0YDz pic.twitter.com/cBAn9rzPgg— BBS TEREFAYINA (@bbstvug) March 8, 2017

Top