rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2016 > November

PALAMENTI KU KASESE

Ababaka ba palamenti olwaleero beegasse ku bannauganda abalala okuvumirira ekittabantu ekyabadde e Kasese.\r\n\r\nWabula bano bakubaganye empawa ku nsonga y’ebifaananyi by’abantu abalabiddwaako nga bambuddwa engoye ng’abamu bavumirira eky’okubambula kyokka abamu nga bagamba nti abantu bano benyini beebeyambudde\r\n\r\nWabula bano bamalirizza nga baagala kumanya obutabanguko buno kwebuva.\r\n\r\n

EBIRI E KASESE

Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere olwaleero asimbiddwa mu kkooti oluvanyuma lw’okukwatibwa olunaku lwajjo\r\n\r\nMumbere agguddwaako musango gwa butemu era n’asindikibwa mu kkomera okutuuka nga 13 omwezi ogujja.\r\n\r\nYyo embeera e Kasese ekyali ya bunkenke nga n’abafiiriddwa abaabwe tebannaba kufuna mirambo gyabwe.\r\n\r\n \r\n

OKUSONDA EZA KOOKOLO

Obulwadde bwa kkookolo obufuuse ekizibu mu ggwanga bweralikirizza abakulembeze okwetoloora mu East Africa era nga batandise kawefube ow’okusonda ssente ez’okwongera amanyi mu ddwaliro lya Cancer e Mulago.\r\n\r\nPulezidenti wa Kenya Uhuru Kenyatta abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno awaddeyo obukadde nkaaga 68 eza Yuganda ate nga ye Museveni awaddeyo obukadde kikumieza

EMISINDE GYA MTN

Leero bannakibuga n’emiriraano enkoko bagikutte mumwa okujjumbira omulanga gw’ekitongole kyebyempuliziganya ki MTN ogwokwetaba mu misinde mubuna byalo egyakazibwako erya Mtn Marathon okudduukirira abalimu mwetaAvu.\r\n\r\nOkwawukanako ne bulijjo ku luno ebyokwerinda binywezeddwa nnyo nga n’ebimotoka ebifuuwa omukka ogubalagala ebibadde bulindaala.\r\n

EBINYUMU N’OBUYIIYA

Enkola nnyingi bajjajja ffe mwebayitanga okutuusa obubaka obwokubuliriria,okuyigiriza n’ebirala okuva ku migigi egimu okudda ku mirala Nga muno mwemuli obuzannyo, engero ennyimba nebirala bingi.\r\nEnsi bwegenze ekyuuka n’okuyiiya nekwoyongera okusobola okutuukana ne tekinologiya owomulembe mu bintu ebiyiyizibwa naddala mu mizannyo egyoku leediyo\r\n

Top