rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2016 > July

ABA KCCA BASISINKANYE

Olusirika lw’abakozi ne bakansala b’ekitongole ki KCCA luguddwawo olwaleero e Ntebe kyokka lutandikide mu kusika muguwa wakati wa Loodi Meeya Erias Lukwago n’abategesi. Kyokka era mu lukiiko lwerumu, Lukwago ne meeya wa Kampala Beti Kamya balidde matereke\r\n

OKULWANYISA OBUBENJE

Mu kawefube w’okulaba ng’obubenje bukendeera mu ggwanga, aba Uganda Red Cross bakkiridde mu masomero.\r\n\r\nBano, bakakasa nti enkola eno yakuyambako nnyo singa omwana ayogerako ne mukadde we ku nkozesa y’oluguudo.\r\n\r\n<iframe width="500" height="350" src="https://www.youtube.com/embed/k7tLWg8bTGs" frameborder="0" allowfullscreen></iframe>

ABAGOBA BA TAXI BASISINKANYE

Abagoba ba taxi bonna mu ggwanga nga bali wamu ne poliisi bategese olukungaana  mwebatemedde empenda z’okukendeza obubenje mu ggwanga awamu n’okugonjoola ebizibu  ebibaluma.\r\n\r\nOlukungaana luno olutudde ku Sharing hall lwetabiddwamu ebikumi n’ebikumi by’abagoba ba taxi.\r\n\r\n<iframe width="500" height="350" src="https://www.youtube.com/embed/XqQ6I-oUHlM" frameborder="0" allowfullscreen></iframe>

KABAZIGURUKA MU KKOOTI

Abenganda abalonzi n’emikwano gy’Omubaka wa Nakawa mu palamenti Michael Kabaziguluka bakonkomalidde ku kooti y’amagye e Makindye bw’atalabiseeko mu basibe abaleeteddwa okuwozesebwa olwaleero.\r\n\r\nAbasajja 24 n’omukazi omu bagasimbaganye ne kkooti y’amaggye e Makindye nga nabo bavunaanibwa gwakulya mu nsi lukwe.\r\n\r\n<iframe width="500" height="350" src="https://www.youtube.com/embed/oiQohPKrxQ" frameborder="0" allowfullscreen></iframe>

ETTOFFAALI E BUIKWE

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero atalaaze disitulikiti ye Buikwe mu nkola y’ettoffaali.Omusasi waffe Semalemu Ssemakula atambudde naye era k’atuwe ebisingawo.\r\n\r\n<iframe width="500" height="350" src="https://www.youtube.com/embed/LA3eZaKjnB4" frameborder="0" allowfullscreen></iframe>

EKKOMO KU MYAKA GYA PULEZIDENTI

Bannakibiina ekiri mu buyinza ki NRM bakubaganye empawa ku ky’okuggyawo ekko ku myaka gy’obwa pulezidenti. Bannakibiina abamu nga bakulembeddwamu omubaka Kyankwanzi baagala ekkomo ku myaka giggyibweo pulezidenti Museveni yeeyongere okufuga ssonga bannakibiina bannaabwe abakulembeddwamu Ssentebe wa NRM e Buikwe bagamba nti kino kyakufiiriza emiti emito akakisa k’okukulembera eggwanga lyabwe. \r\n

NNALULUNGI WA BUGANDA

Minisita ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Rosemary Ssenninde Nansubuga yennyamidde olw’abasomesa abalemereddwa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe mu kuyigiriza abayizi ebintu eby’enkizo. Bino minister abyogeredde ku mukolo ogw’okulonda omuwala anaakiikirira Kyadondo mu bwannalulungi bw’ebyobulambuzi mu Buganda.\r\n

OKULIMA MUWOGO

Ekitongole ekivunanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu mu Bwakabaka bwa Buganda ki Buganda Cultural and Development Foundation (BUCADEF) kibangudde abantu ab’enjawulo ku ennima ya muwogo ey’omulembe, okusobola okwewala obulwadde obutawanya muwogo ensagi zino. Muwogo yanokolwayo ng’ekimu ku birime ebirina okuteekebwako omulaka era nga ne mu mbalirira ya Buganda eya 2016/2017 okulima muwogo

OKULONDA KWA AU

\r\n\r\nDr. Specioza Wandira Kazibwe abadde avuganya ku ky’obwassetenbe w’ Omukago gu African Union awanduse mukuvanganya kuno. Bagenze okuyingira omutendera gw’okulonda ogw’okubiri nga munnayuganda ono yavudde dda mul wokaano olw’ensonga nti banne b’abadde avuganya nabo babadde bamukulembedde mu kalulu kano.\r\nWabula okulonda kusaziddwamu oluvannyuma lw’ababadde abakulembeddemu mu lwokaano luno okuba nga tebasobodde

Top