rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2016 > June (Page 2)

BESIGYE MU KKOOTI

Omulamuzi wa Kooti ye Nakawa James Eremye alabudde omuwaabi wa gavumenti Deboral Itwau okwanguya obujulizi ku misango egivunanibwa Dr. Kizza Besigye egy’okulya mu nsi ye olukwe asobole okusindikibwa mu Kooti enkulu erina okuwuliriza omusango guno.\r\n\r\nBesigye alaze obwerariikirivu bw’alina ku bulamu bwe bwategeezezza omulamuzi nti eddembe lye lirinnyirirwa mu kkomera

OMUMYUKA WA MEEYA E MAKINDYE

\r\nOlukiko lw’eGombolola y’eMakindye olunaku olwaleero lulonze omumyuka wa meeya w’ekitundu kino wakati mu kuwakanyizibwa okuva mu bakiise ab’enjawulo.\r\n\r\nMeeya w’ekitundu kino Ali Nganda Mulyanyama asanze akadde akazibu okumatiza abakiise ku muntu gw’abadde alonze.\r\n\r\n

KABAZIGURUKA MU KKOOTI

Omubaka we Nakawa Michael Kabaziguruka olwaleero asimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye oluvanyuma lw’ebbanga ng’akwatibwa n’ayimbulwa ku misango egitabadde mirambulukufu.\r\nKabaziguruka avunaanibwa kwetaba mu kubega maggye n’ekigendererwa ky’okutandikawo olutalo.\r\nOno kyokka kyokka asazeewo obutanyega kigambo kyonna bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’amaggye.\r\n\r\n\r\n

KABAKA BAMULAZE OMUKULU W’EKIKA

Katikkiro owek. Charles Peter Mayiga ayanjulidde Ssaabasajja Kabaka omutaka omukulu w’ekika ky’ENgeye Kasujja Kyesimba wakati mu buwagizi n’essanyu okuva mu bazzukulu.\r\n\r\nOmukolo guno ogubadde ogw’ekitiibwa gwetabiddwaako ne ba Minista ba Kabaka, Abataka abakulu b’obusolya, Abalangira n’Abambejja, bannaddiini wamu n’abazzukulu mu kika okusingira ddala abava mu Mutuba gwa Kalutte.\r\n

LUKWAGO ASISINKANYE BA MEEYA

Ekisanja ky’abakulembeze ba Kampala ekiwedde kyaggweera mu kusika muguwa nga ba meeya b’amagombola balwanagana ssong’ate n’omuloodi wa Kampala n’akulira eby’emirimu mu kibuga Jenniffer Musisi nabo baali tebalima kambugu. Abakulembeze abapya abaakalayizibwa batutegeezezza nti wano webaagala okusooka okugonjoola mu kisanja kino ekipya. Robert Mwanje awayizzaamu kko nabo era bwebiti bwebibadde.\r\n

EMYAKA 10 EGY’EKISAAKAATE

NGA ekitongole kya Naabagereka ekya Naabagereka Development Foundation kijaguza okuweza emyaka kkumi bukya kitandikibwawo, Dr. Noeline Kaleebu akikulira alangiridde nga bwe bagenda okukola ebintu ebitali bimu olw’okulukuza.\r\nNaabagereka Olwaleero abadde ku ssomereo lya Sseeta High Green Compus ku luguudo lw’eBugerre nga tongoza ekibiina ekigatta abaana abaaliko mu Kisaakaate.\r\n

SSEBUTINDE ALAMBUDDE LUZIRA

Abasibe e Luzira bazinye gunteese nga baaniriza ssenkulu w’ettendekero lya  Mutesa 1 Royal University omulamuzi Julia Ssebutinde.\r\n\r\nBano bamenyewo enjogera ya kiisokyambuzi ekirekerera omussi nekitunuulira omubaazi nti wadde nga Sebutinde y’omu ku balamuzi abazze nga babasindika mu mbuzi ekogga tebajja ku munyiigira. Bano bakira oluyimba bali ku lwakusaba kisonyiwo. Geote William

Top