rnrnrnrnrn
You are here
Home > 2016 > May

ABA LC TEBANNABA KULONDEBWA

Kati emyaka giweze kkumi n’etaano bukya bukiiko bwa LC esooka n’ey’okubiri bulondebwa okukulembera ebitundu eby’enjawulo nga bwekirambikibwa mu Ssemateeka wa Uganda.\r\n\r\nWabula abantu ab’enjawulo beemulugunya ku bukulembeze buno obutakyusibwa ekibaviiriddeko okukola emirimu mu ngeri ya gaddibe ngalye nga n’abandi kati baafuukira ddala bafere.\r\n\r\nMu Geesigiika olunaku olwaleero tukukubidde tooki mu bukulembeze buno

ABAYISIRAAMU BAAGALA BIFO

Abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga battukizza okusaba nti nabo baweebwe ku mugaati gw’eggwanga okuyita mu bifo ebikulu eby’obukulembeze.\r\n\r\nPulezidenti Museveni yasemba okulonda ba minisita omwaka oguwedde kyokka nga mu baalondebwa abayisiraamu baali ba lubatu nga n’omu ku baweebwa ate yamamulwaako ekifo lwabutaba na mpappula za buyigirize zimatiza.\r\n\r\nKu luno abayisiraamu bagamba nti basomye

SEJUSA SSI MUNNAMAGGYE

Kkooti enkulu wano mu Kampala ekatyemudde nti Gen. David Sejusa takyali munnamagye wa UPDF.\r\n Ono yekubira endulu mu kkooti ng’ayagala emuwumuzze mu maggye kubanga yali tasasulwa okumala ebbanga, nga tebaamugaba gy’akolera, ssaako n’okumujjako ebyambalo by’amaggye.\r\nKKooti era eragidde nti Sejjusa aliyirirwe obukadde 750 olw’ebbanga ly’amaze nga tasasulwa n’okwetawula mu kkooti.\r\nOmulamuzi Margeret

ENTEEKATEEKA ZA MAY 24TH

Olunaku lw’enkya lwegiwera emyaka ataano bukya Apollo Milton Obote alagira amaggye okulumba olubiri n'ekigendererwa eky'okulumya eyali Kabaka wa Buganda era Pulezidenti wa Uganda eyasookera ddala SSekabaka Muteesa ow’okubiri.\r\n\r\nEnteekateeka zonna ziwedde ng’emikolo gyakubeera ku Lubiri e Mmengo abagenyi okuva mu Gavumenti eyawakati ne Mmengo webagenda okukungaanira okwongera okwejjukanya ku byaaliwo nga

KATIKKIRO AGENZE BWERU

Katikiiro wa Buganda Owek. Charles Peter ng’aliwamu n’olukiiko lwa Buganda Twezimbe basitudde okugenda ku lukalu lwa Bulaaya okulambula abantu ba Ssaabasajja wamu n’okubatusaako obubaka obuva embuga.\r\n\r\nBw’abadde asitula ku kisaawe Entebe , Katikkiro Mayiga ategeezezza nga bwebagenda okutuuza abaami ba Ssaabasajja mu Masaza ag’enjawulo era nga baakusisinkana abantu abawerako mu kawefube

SLOVAKIA EURO 2016

Ngatumaliriza ebikwata ku kibinja ekyokubiiri mukikopo kye mpaka za Bulaaya, olwaleero tukuletedde eggwanga lya Slovakia. Lino limaze emirundi egiwerako nga likiika mu mpaka zino ng’omusasi waffe bw’azudde.\r\n\r\nSlovakia yatandika okusamba omupiira  nga 27-08-1939,Slovakia newangula German 2-0. Egwanga lino lyakasamba ekikopo kyensi yona omulundi gumu mumwaka gwa 2010 ate kyo ekikopo kya

FDC BAKUKKULUMA

Bannakibiina ki FDC bekokkodde gavumneti ku by’okukwata era neggula emisango ku yabakwattira bendera mu kulonda okwakagwa nga tebabawadde na mukisa omuntu wabwe okwewozaako.\r\n\r\nDr. kiiza besigye yakwatibwa ku lunaku lwokusatu naggalibwa e moroto.\r\n\r\nOluvanyuma lwokwatibwa kwa  Col . Dr. kiiza Besigye natwalibwa mu bitundu bye moroto era naggulibwako omusango gwokulya munsi ye

OLUSIISIRA LW’EBYOBULAMU

Ab’e kanisa ku lutikko e Namirembe bakoze olusiisira lw’ebyobulamu mu kaweefube w’okukuuma abakkiriza n’abatali nga balamu. Ekkanisa etaddewo olusiisira luno okusobola okukebera abantu endwadde ezitali zimu ssaako n’okujjanjaba abo abasangiddwa nga balwadde. Abannaddiini abategese olusiisira luno bavumiridde ababuulizi b’enjiri abagaana abantu okugenda mu malwaliro okujjanjabwa nebabagamba nti essaala zokka zijja

Mama Nnabagereka awomye omutwe mu kawefube ow’okulwanyisa endwadde

Mama Nnabagereka awomye omutwe mu kawefube ow’okulwanyisa endwadde ezitafiiriddwako nnyo nadala wano ku lukalu lw’Africa ejiimu kumikolo egyabadde muggwanga ly’e Rwanda nga etegeeka world Economic forum. Endwadde zino kuliko ebiwuka eby’omulubuto, bilharzias, okuzimba ebigere n’endala. Mu lukungana olukubiddwa mu ggwanga lya Rwanda Mama Nabagereka gy’asinzidde n’ategeeza nga abakulembezze ab’ ennono

Top